TOP

Bamugobye fiizi n’afiira mu kidiba

By Musasi wa Bukedde

Added 15th March 2019

OMWANA olwatuuse awaka n’agamba banne nti ‘ebbugumu limuli bubi ayagala kugenda kunaabaako.

Nge 703x422

Muhammad Mapeesa eyafudde ( ku kkono) ne munne.

Baalowoozezza nti agenze mu kinaabiro kyokka yeetoolodde agenda ku kidiba kya Lweza Clays mwe basima ebbumba ly’amategula kuwuga.

Mutoowe ow’emyaka 14, Abdullazake Mapeesa yamulondodde gye yabadde agenze kyokka yamusanze ng’akka mu kidiba kwekudduka ayite abazadde kyokka baagenze okutuuka nga tebamulaba.

Abazadde baakubidde poliisi y’e Kajjansi eyakubidde balubbira baayo okuva e Kigo abazze ne bakka wansi ne baggyayo omulambo ogwabadde guwagamidde mu ttosi ku ntobo y’ekidiba.

Muhammad Mapeesa 16, mutabani wa Sheikh Hussein Mapeesa ye yafudde mu ngeri ey’ekikangabwa ng’azzeeyo awaka okufuna fiizi. Abadde asoma S3 ku Kitende SS ng’ava waka.

Wadde ekidiba kibali mmita 200 okuva ku maka gaabwe mu Lweza A ku luguudo lw’e Ntebe, abadde takigendangamu. Nnyina Zaitun Najjemba yagambye nti, yeewuunyizza engeri mutabani we abadde tawuga ekyamutanudde okugenda ku kidiba gye yafiiridde.

Yagasseeko nti, ku Lwokubiri baamugoba okuva ku ssomero olwa fiizi wabula teyategeeza kitaawe era ku Lwokusatu yasiibye waka ng’amuyamba ku mirimu.

Ku ssaawa 10:00 ez’olweggulo ng’essaawa y’okusaala esswala ya Aswiri etuuse, yalowoozezza nti baabadde bagenze kusaala kyokka ate mu muzikiti tebaalabiseeko ekyaddiridde kulaba mutabani we omuto ng’adduka aleekaana nti, ‘maama, maama, Muhammad ayingidde mu mazzi n’abuliramu’.

Agamba yadduse za mbwa yagenze okutuuka ku kidiba nga mutabani we tamulaba kwe kukuba omulanga nti, ‘woowe omwana wange’. Abantu abaabadde okumpi abaawulidde omulanga gye gufubutuka nabo badduse okulaba ogubadde.

Baamusanze alaajana nga yenna aboyaana nti, ‘omwana wange afiiridde mu mazzi’ yagasseeko nti, ‘ye bano abasima ebidiba lwaki tebabisibaako ssehhenge osanga omwana Wange teyandifudde!

Mu Busiraamu esswala tebagiyimiriza era taata w’omwana yawulidde omulanga naye ng’ali wakati mu sswala era yasoose kugimaliriza. Olwabadde okuggwa, yawenyuse buwewo n’engatto yazeerabidde ku muzikiti okugenda okulaba ogubadde.

Yasanze abantu abalala bakungaanye n’agwawo ekigwo. Abantu ab’enjawulo baavumiridde amakampuni agayiikuula ettaka nga gasima ebbumba ne babireka nga si bibikkeko.

Baagambye nti, ekitundu kyonna kijjudde ebidiba mwe basima ebbumba ebifuuse eby’obulabe ku kitundu kyabwe.

Musini Mapeesa omu ku booluganda lw’omugenzi yagambye nti, Muhammad abadde mukkakkamu ate omuwulize.

Abadde tamanyi kuwuga ate nga tatambulatambula era yeewuunyizza nnyo okumulaba ng’afiiridde mu kidiba. Balubbira omulambo baaguggyeeyo ne bagutwala mu ggwanika e Mulago aba famire gye baaguggye okugutwala e Bugiri mu Busoga okuziika.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala

Yes3 220x290

Uganda esubiddwa eza Afrika

Uganda esubiddwa eza Afrika

Bok1 220x290

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa...

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

Mis1 220x290

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo...

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

Kip2 220x290

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa...

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo