TOP

Museveni ayogedde ku bya Rwanda okuggala ensalo

By Musasi wa Bukedde

Added 15th March 2019

PULEZIDENTI Museveni agambye nti amawanga ga Afrika okuggala ensalo okulemesa amalala okutambuza ebyobusuubuzi akigeraageranya ku muntu okweyimbamu omuguwa ne yeetuga.

Musevenikagame703422 703x422

Pulezidenti Museveni ne munne Kagame owa Rwanda

Yabadde ayogera mu kuggalawo olukuhhaana lwa ‘Africa Now Summit 2019’ ku Lwokusatu n’ategeeza nti amawanga agamu okuggala ensalo okulemesa okutambuza ebyobusuubizi kya bulabe nnyo kubanga kiremesa ebyamaguzi okutuuka mu katale ekivaako ebyobusuubuzi okukonziba.

Yasabye abakulembeze b’amawanga ga Afrika okuggyawo emiziziko egy’engeri eyo ku nsalo z’amawanga ge bakulembera.

Yawadde ekyokulabirako nti mu 1986 bwe yali yaakajja mu buyinza, waliwo abaamuwa amagezi aggale ensalo ya Uganda ne Kenya n’akigaana.

Baamubalira ekibalo nga Kenya eyingiza mu Uganda ebyamaguzi bya bukadde bwa ddoola za Amerika 200 kyokka nga Uganda esobola okutunda e Kenya ebyamaguzi bya bukadde bwa ddoola 12 bwokka.

Yagambye nti yakigaana kubanga kikotoggera enkulaakulana ya Afrika.

Yagambye nti engeri yokka ey’okutumbula n’okunywezaamu enkulaakulana Afrika gy’etuseeko, kwe kuggyawo emiziziko ku nsalo abasuubuzi ne basobola okwegazaanya nga batambuza ebyamaguzi okusukka ensalo z’amawanga basobole okweyagalira mu katale akagazi.

Wabula Pulezidenti Paul Kagame bwe yabadde ayogera wiiki ewedde yategeezezza nti embeera eri ku nsalo z’amawanga okusinziira ku ye si kizibu ekiyinza n’okuvaako olutalo.

Yagambye nti ye mwetegefu okuteesa era yasabye Pulezidenti Museveni akkirize era naye ammuddize omukwano n’ategeeza nti Rwanda si mulabe wabula mukwano gwa Uganda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte