TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Uganda eneezimba eddwaaliro lya bbiriyooni 1,000

Uganda eneezimba eddwaaliro lya bbiriyooni 1,000

By Musasi wa Bukedde

Added 15th March 2019

PALAMENTI ekkirizza gavumenti okuwaayo obukadde bwa ddoola za Amerika 379 (eza Uganda zisoba mu bbiriyoni 1,137) okuzimba eddwaaliro erijjanjaba endwadde naddala ezibadde tezisobola kujjanjabirwa mu Uganda.

Proposedishulubowa 703x422

Eddwaaliro ligenda kuzimbibwa Lubowa mu disitulikiti y’e Wakiso nga lyakuyitibwa International Specialised Hospital era lyakukendeeza ku muwendo gwa Bannayuganda ababadde batwalibwa ebweru okujjanjaba endwadde eziremye kuno.

N’abantu abava ebweru wa Uganda bajja kusobola okujja wano okujjanjabirwa mu ddwaaliro eryo.

Lyakujjanjaba endwadde nga ssukaali, kkansa, emitima, endwadde ezireetera abantu okwekyawa ne beetuusaako obulabe.

Minisita omubeeziow’ebyensimbi, David Bahati yagambye nti eddwaaliro lino ligenda kubaamu obukugu bw’okujjanjaba endwadde ezeetaaga abantu okukyusa obusomyo n’okukyusa ebitundu by’omu mubiri eby’omunda ng’emitima, amawugwe n’ebirala.

Beatrice Anywar (Kitgum municipality) yawagidde okuwaayo ssente ng’agamba nti kikendeeza ku Bannayuganda abagenda ebweru okujjanjabwa.

Ssentebe w’akakiiko ka palamenti ak’ebyobulamu, Dr. Michael Bukenya yagambye nti, “Ebiwandiiko okuva ku kitebe kya Buyindi mu Uganda biraga nti okuva mu 2015 okutuuka 2016, Bannayuganda 3,200 be batwaliddwa e Buyindi okujjanjabwa. Ate mu 2016 ne 2017 abantu 4,800 be baagenzeeyo.

Yagambye nti Munnayuganda yeetaaga ddoola 25,000 (obukadde 75) okutwalibwa e Buyindi okujjanjabwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte