TOP

Abadde yaakava mu kkomera akwatiddwa mu bubbi

By Musasi wa Bukedde

Added 15th March 2019

"Tuludde nga tuwulira erinnya lya King Luga mu banyakuzi b'amasimu naye nga tetufunanga mukisa kumukwata wabula twamukwatidde mu kikwekweto kye twakoze ku makya ku nguudo."

James Magala

OMUVUBUKA abadde yaakayimbulwa okuva mu kkomera ly'e Kigo ku misango egyekuusa ku kukommonta ebiragalalagala akwatiddwa mu bubbi bw'asangiddwa n'essimu bbiri ezigambibwa okubeera enzibe.

Ali Lubega 19, amanyiddwa nga King Luga ow'e Kajjansi abadde yaakayimbulwa mu kkomera ly'e Kigo gy' amaze emyezi 8 era ng’abadde yaweebwa  ekibonerezo eky'okukola bulungibwansi mu kitundu kye, yakwatiddwa poliisi ya Ppaaka Enkadde oluvannyuma lw'okukola ekikwekweto ku bavubuka abanyakula amasimu ku nguudo ne bamusanga n'essimu bbiri enzibe.

 li ubega ing uga Ali Lubega (King Luga).

 

Atwala poliisi ya Ppaaka Enkadde, Apollo Muhoozi, yategeezezza nti baludde nga bawulira erinnya lya King Luga mu banyakuzi b'amasimu naye nga tebafunanga mukisa kumukwata wabula nti baamukwatidde mu kikwekweto kye baakoze ku makya ku nguudo.

Muhoozi yagambye nti baakukola okunoonyereza nga beeyambisa nnannyini ssimu King Luga ze yasangiddwa nazo kubanga baamufunye era oluvannyuma waakusindikibwa mu mbuga z'amateeka avunaanibwe.

King Luga mu kubuuzibwa ku nsonga zino yakkirizza okubba essimu ezoogerwako n'ategeeza nti aludde ng’anyakula obusimu naddala ku bakyala wabula n'alaajanira abaserikale okumusonyiwa baleme kumuzza mu kkomera kubanga abadde awonye ennaku y'ekkomera n'ategeeza nti singa bamusonyiwa aba takyaddira bikolwa bya kubba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte