TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba People Power bawangudde e Makerere n’e Kyambogo ne basoomooza Besigye

Aba People Power bawangudde e Makerere n’e Kyambogo ne basoomooza Besigye

By Martin Ndijjo

Added 17th March 2019

Aba People Power bawangudde e Makerere n’e Kyambogo ne basoomooza Besigye

Leb3 703x422

Besigye ate mu katono be baana abawangudde

Bannakisinde kya ‘People Power’ bawangudde ebifo by’obukulembeze bw’abayizi (Guild President) e Makerere ne Kyambogo ne bawaga.

Bagamba nti kano kabonero akalaga nti Bobi wine y’asinga Dr. Kizza Besigye amaanyi ku ludda oluvuganya era y’ateekeddwa okukulemberamu mu kaweefube ow’okusiguukulula Pulezidenti Museveni mu kalulu ka 2021. “Aba FDC tubagamba nti People Power kati yeeriwo naye ndowooza kati bakyerabiddeko n’amaaso gaabwe nti ne mu zi yunivasite gye babadde beegirisiza tubawangudde,’’ bwe batyo aba People Power bwe baasoomoozezza aba Besigye.

Okwogera bino kiddiridde musaayi muto Julius Kateregga owa UYD eyajjidde mu kisinde kya People Power (PP/UYD) okuwangula ekifo ky’omukulembeze w’abayizi ku Yunivasite y’e Makerere mu kalulu akabaddeko vvaawompitewo akalangiriddwa mu kiro ekyakeesezza Olwomukaaga.

Yafunye obululu 3,912 n’addirirwa Joshua Mukisa naye owa People Power (PP) n’obululu 3,365. Taliwako Andrew Julian (NRM) yafunye 1,465 ate owa FDC Namuddu Milly yakutte kyakuna n’obululu 1,298. Abalala abavuganyizza kuliko:

Mutumba George Onesmus (IND) yafunye 866, David Musiri yafunye 637, Nsimire Winter yafunye 8, Arlinda Osbert yafunye 55 ne Umaru Wageya yafunye 44. E Kyambogo Bano be baasoose okulonda era eno nayo aba ‘People Power’ bawangudde.

Tundulu Lithan Jonathan owa ‘People Power’ yamezze banne abalala 11 bwe baavuganyizza. Yafunye obululu 2,789 naddirirwa Juma Atto Sebbi owa FDC eyafunye 2,634.

Kalulu Nicholas (talina kibiina) 1,489 ate Ahabwe Christian owa NRM yafunye 1133. Obuwanguzi bw’abayizi bano bucamudde bannakisindde obwedda ababawereza obubaka obubayoozaayoza.

Omubaka Latif Ssebaggala Ssengendo mu bubaka bwe yatadde ku mukutu gwe ogwa Face book ng’ayogera ku buwanguzi bwa Kateregga yagambye nti “Kino kyeraga lwatu nti amaanyi g’abantu ba bulijjo gasinga buli kimu’’. Ate ye Bobi Wine mu bubaka bwe ng’ayogera ku buwanguzi bwa Tundulu eyamukyaliddeko mu maka ge e Magere oluvannyuma lw’okumulangira ku buwanguzi yagambye nti “kano kabonero akalaga nti ebiseera by’ensi yaffe eby’omu maaso bitangaavu”.

Era abawanguzi abakubirizza okukuuma obumu n’okukolera awamu n’abayizi bonna ku lw’obulungi bwa Yunivasite gye basomera n’ensi yaabwe. Bannakisinde kya ‘People Power’ we baatuukidde ku buwanguzi buno nga ne Bobi Wine kyajje aveeyo n’asaba Dr. Kizza Besigye amudde emabega mu kulonda kwa Pulezidenti okwa 2021, kuba emirundi ena gy’avuganyizza alemeddwa. Bino yabyogedde gye buvuddeko ng’ali ku mukolo gw’omubaka wa Mityana munisipaali, Francis Zaake ogwabadde mu maka ge e Buswabulongo ogw’okwebaza Katonda okumuwonya ekkomera n’ebizibu ebirala by’ayiseemu.

Bobi Wine yagambye nti Besigye mukwano gwe ng’omuntu era amuwa ekitiibwa n’abakulembeze abalala nga Betty Nambooze (Mukono Munisipaali). Kyokka ekiseera ky’amaze mu byobufuzi akizudde ng’alina kukkiririza mu bikolwa by’omuntu okusinga by’ayogera. “FDC etuwe omukisa ffe abalowooza nti tusobola okuwangula Museveni n’akalulu.

Mu bulamu bw’oba oyagala okufuna ky’otofunangako olina kukola ky’otakolangako. Kye muba mukola mwewandiise kuba omusajja mmwesobolera.” Yawadde ekyokulabirako nti baasobola okutuuka ku buwanguzi e Bugiri, Arua ne Kyaddondo East nga tebeegase.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nyiga 220x290

Bajjo anyiga biwundu nga bw’awera...

Ekivvulu kya ‘Kyalenga Extra’ bwe kyasaziddwaamu n’akanyoolagano akaabaddewo nga Bobi Wine n’abategesi bakwatibwa,...

Kasa 220x290

Embeera ya Rema ne Kenzo erekedde...

Abaalabye Rema Namakula ng’agabula bba, manya Eddy Kenzo obuugi ng’ali wamu ne muwala waabwe Amaal Musuza ne mikwano...

Untitled3 220x290

Gwe nnali njagala namusanga na...

Nze Sadam Ssempala. Ndi mutuuze w’e Miseebe mu ggombolola y’e Bulera mu disitulikiti y’e Mityana.

Noonya 220x290

Nnoonya mukazi alina empisa

Nneetaaga omukyala asobola okunyambako okutumbula ekitone kyange ng’alina empisa.

Funa 220x290

Nsinga kwagala musajja Muzungu...

Okusinga nneetaaga mwami Muzungu kuba bamanyi omukwano, ali wakati w’emyaka 27- 50, alina empisa, afaayo, alina...