TOP

Carol Nantongo ssente za vidiyo zimuwuuba

By Musasi wa Bukedde

Added 18th March 2019

ABAYIMBI Carol Nantongo owa Golden Bandi ne Sheebah Karungi gye buvuddeko baafulumizza oluyimba ‘Sirwana’ nga balaga engeri gye batebuse abasajja.

Bosa1 703x422

Oluyimba luno lukubiriza abakazi okuva ku nkola y’okulwana ne baggya baabwe kubanga tebalina musango era si be bakwana abasajja kyokka ne bagamba abakyala nti laavu kazannyo omusajja bwaweta ekkoona ng’olwo bategeeza okwenda nga naye yeeyiiya nga benkanya evvumbe.

Bagamba nti omukazi bw’aba yeetaaga omusajja ng’ate bye yeetaaga tabimuwa buli lw’abimumma afunirawo amubudaabuda okweggyako situleesi.

Wabula agava e Makindye ge ga Nantongo okutuula obufoofoofo n’okusiiba ng’atetenkanya okufuna ssente z’okukola vidiyo y’oluyimba luno lwongere okutambula mu bantu kubanga lutandise okumukolera.

Owoolugambo waffe atugambye nti maneja wa Golden Bandi, Musa Kavuma bino olwamugudde mu matu n’alengera ddiiru. Amulagidde okunoonya omuntu gwe bagenda okukola naye vidiyo amubuulire buli ekyetaagisa n’oluvannyuma amutwalire bbiiru alabe engeri gyamuyambamu.

Carol Nantono alina ennyimba nga ‘Ontuuka’, Kamese tambula, Misumaali, Tukiggale n’endala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pop2 220x290

Abadde awa omwana obukerenda bw'otulo...

Abadde awa omwana obukerenda bw'otulo n'agenda okwetunda Poliisi emukutte

Lab1 220x290

Ow'emyaka 5 agudde mu kidiba n'afa...

Ow'emyaka 5 agudde mu kidiba n'afa nnyina n'azirika

Sab1 220x290

Ababadde bagufudde omuze okubba...

Ababadde bagufudde omuze okubba mukama waabwe kkamera zibakutte

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...