TOP

Owa P.7 afudde abazadde ne balya obuwuka!

By SHAMIM NABUNNYA

Added 18th March 2019

OMUYIZI wa P7 afudde abazadde ne batabukira essomero nga balirumiriza okulagajjalira omwana waabwe n’atafuna bujjanjabi mu budde. Bino byabadde ku ssomero lya Kyengera Primary School, omuyizi wa P7, Gerald Ssegujja, 14, bwe yafudde, bazadde be ne bacwana nga bagamba nti abaliddukanya baamulagajjalidde n’afa nga taweereddwa bujjanjabi bumala.

Funa 703x422

Abakungubazi ngabakungubagira omugenzi e Buloba ewa Jjajja we, asooka ku maaso ku kkono ye Ritah Nankwanga maama w’omugenzi. Mu katono ye Ssegujja eyafudde

Maama w’omwana, Ritah Nankwanga omutuuze w’e Kyengera yategeezezza nti ku ssaawa nga 6:00 baamugambye nti mutabani we mulwadde.

“Nasitukiddemu era namusanze bamutadde mu ddwaaliro lya Mirembe Clinic ng’embeera mbi takyasobola na kutambula. Eno gye namuggye okumutwala e Lubaga gye yafiiridde,’’ Nankwanga bwe yagambye.

N’agamba nti omwana we yamuggye mu Mirembe Clinic n’amutwala e Lubaga ku ssaawa 1:00 ez’akawungeezi n’afa ku ssaawa 3:00 ez’ekiro.

Yagambye nti tewali musomesa wadde metulooni eyamukubidde essimu okumutegeeza nti omwana we mulwadde ng’ate be basiiba naye ekiraga obulagajjavu.

Taata w’omwana Gerald Ssemmambo embeera eyatuuse ku mwana we yamussusseeko era yalemereddwa okubaako ky’ayogera.

Ate Faaza Edward Bwanika eyabadde mu kusabira omugenzi yagambye nti, “omukulu w’essomero Bashiri Mulamojja yategeezezza nti omwana yagamba abasomesa nti omutwe gumuluma ku Lwomukaaga ne bamutwala ku Mirembe Clinic wabula embeera ne yeeyongera okubeera embi okutuusa bazadde be lwe baamuggyeeyo ne bamutwala e Lubaga mu ddwaairo gye yafiiridde.

‘’Omwana abasomesa yabagamba ku ssaawa nga 5:00 ez’oku makya nti mulwadde ne bamuwa ‘panado’. Embeera bwe yeeyongera okutabuka ne bamutwala mu Mirembe Clinic. Wabula abazadde baatuuse ssaawa 12:00 ez’olweggulo ne bamuggyawo okumutwala e Lubaga gye yafiiridde.

‘’Ebyogerwa omuzadde nti twalagajjalidde omwana we ssi bituufu. Omwana abadde tatera kulwala era naffe kino kyatuyitiriddeko era bayizi banne bonna bali mu kikangabwa kuba abadde muyizi mulungi nnyo mu kibiina,’’omukulu w’essomero bwe yagambye.

Faaza Edward Bwanika ng’ayigiriza mu kusabira omugenzi yavumiridde Bannayuganda abalina ettima ku bannaabwe n’agamba nti abantu mu Uganda babbi abalala batemu ate abamu bannanfuusi.

Yawabudde ab’amasomero okukomya obulimba bwe bakola ku masomero gaabwe nga baagala okufuna abayizi ne balimba nti essomero liyisa bulungi abaana ng’ate olumu tebiba bituufu.

Omumyuka w’omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yategeezezzza nti abazadde babadde tebannavaayo kuloopa musango ku poliisi y’e Kyengera naye babasaba bwe wabaawo obutali bumativu bagende ku poliisi bajja kuyambibwa banoonyereze ekituufu.

ABAANA B’AMASOMERO ABAZZE BAFA MU NGERI ETATEGEEREKEKA

March 16, 2016 OMWANA Francis Magunda 3, eyali asoma mu Baby Class ku Bright Community Nursery and Day Care e Mpereerwe mu Nammere Zooni yafiirira mu kinnya ky’essomero we yali azannyira.

October 16, 2016: Cosmas Kizza 13 eyali asoma ku St.Gyaviira e Lweza yafiira mu kidiba ekiriraanye essundiro ly’amafuta erya Total e Kajjansi. Banne badduka wabula wabbali ku kidiba we baasanga yunifoomu.

Owa P.7 afudde abazadde ne bacwana March 19, 2012 Omwana Olivia Nakidde 3 eyali asoma mu ''Baby Class' mu ssomero lya ABC Nursery and Primary School e Kiteetikka yafa oluvannyuma lw’ebigambibwa nti yagwa mu buugi October 21, 2016 Omuyizi Michelle Kateregga eyali asomera mu Yet Happy Kids erisangibwa e Namasuba Central Zooni mu Munisipaali y’e Makindye Ssaabagabo nga yali mu kisulo yasobezebwako n’afa.

Feb 2013: Omuyizi Sylvia Ssuubi eyali asomera Kabunyata Primary School e Luweero yasobezebwako abantu abatamanyiddwa ne bamutta.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala

Yes3 220x290

Uganda esubiddwa eza Afrika

Uganda esubiddwa eza Afrika

Bok1 220x290

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa...

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

Mis1 220x290

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo...

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

Kip2 220x290

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa...

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo