TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bawandiikidde Museveni ku nteekateeka y'emirembe

Bawandiikidde Museveni ku nteekateeka y'emirembe

By Benjamin Ssebaggala

Added 18th March 2019

EBIBIINA ebirwanirizi by’eddembe ku mutendera gw’ensi yonna biwandiikidde pulezidenti Museveni ebbaluwa nga bamusaba okunyweza emirembe egiriwo mu ggwanga era gitebenkere.

Hwpcl10 703x422

Basinzidde ku yunivasite e Makerere mu lukung’aana olwatudde ku Lwomukaaga mu lukung’aana olw’omwaka ogw’okusatu mu bikujjuko eby’okulangirira emirembe n’okukomya entalo ‘Declaration Of Peace and Cessation of War (DPCW).

Olukungaana lwategekeddwa ekibiina ky’obwannakyewa ekya HWPL ensibuka e South Korea nga kyatandikibwa  Man Hee Lee eyeli omulwanyi w’entalo.

Man Hee Lee Sentebe wa Heavenly Culture, World Peace, Restoration of Light (HWPL), ekigenze kibuna amawanga okutuuka mu Uganda.

Amyuka dayirekita wakyo mu Uganda ye David Nkwanga eyategeezezza nti enteekateeka y’okuwandiikira abakulembeze okubasaba okuwagira kaweefube w’okuzza emirembe yakoleddwa ku mawanga 193.

March 14 enteekateeka eno yakoleddwa mu bibuga okuli New York, Delhi, Frankfurth, Sydney, Cape Town, Instanbul, Seoul, Tokyo ne London.

Abanatu ab’enjawulo okuli n’abayizi b’e Makerere beetabye mu lukung’aana era nga bagabana obubaka n’amawanga amalala ebyabadde biragibwa ku lutimbe.

Ekigendererwa mu nteekateeka eno kwekubaga ekiwandiiko ky’etteeka eririna okwanjulwa mu kibiina ky’amawanga magatte kisobole okuyisa etteeka ku mbeera y’okukomya entalo.

alt=''

Enteekateeka y’okuwandiikira abakulembeze bagituumye ‘Peace Letter Campaign’ abavubuka baayimbye oluyimba lwa Lucky Dube olwa Different Colours One People.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiromayigangaalinaboogezibokumikoloabeetabyekumukologwoluwalokubulanekulwokubiri002webusenu 220x290

Katikkiro Mayiga abakubirizza okunnyikiza...

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akubirizza Ab'e Buluuli ne Ssese okunnyikiza obulimi kubanga teri mulimu...

Manya 220x290

Abakazi abasinga tebamalaamu kagoba...

Abakazi emirundi 6 ku 10 gye beegatta mu kaboozi tebatuuka ku ntikko. Wabula babuulire kwekoza nga abamazeemu akagoba....

Saalwa703422 220x290

Teddy ayanukudde Bugingo ku bya...

TEDDY Naluswa Bugingo ayanukudde bba Paasita Aloysius Bugingo ku kya ffiizi z’abaana ne ssente.

Florencekiberunabalongowebuse 220x290

Alina olubuto lw'abalongo ne by'olina...

Abasawo balaze abalina olubuto olulimu omwana asukka mu omu bye balina okukola obutabafiirwa nga tebannazaalibwa...

Research1 220x290

Ebizibu ebibeera mu kutambuliza...

ABATANDIKA omukwano ekimu ku birina okwewalibwa ku kugutambuliza mu kweteeka mu butaala ate nga si bwoli.