TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Famire ya ofiisa wa poliisi eyafiira ku nnyonyi egenze akabenje gye kaagwa

Famire ya ofiisa wa poliisi eyafiira ku nnyonyi egenze akabenje gye kaagwa

By Musasi wa Bukedde

Added 18th March 2019

ABA kkampuni y’ennyonyi eya Ethiopian Airlines batutte bamulekwa b’ofiisa wa poliisi Christine Alalo mu kifo ennyonyi we yagwa ne baganzikawo ebimuli n’okusabira nnyaabwe.

Nyonyi 703x422

Abaana ba ofiisa wa poliisi Alalo ne kojjaabwe nga bali ennyonyi ya Ehiopian Airlines we yagwa n’emuttiramu. Mu kato ye mugenzi Alalo

Bamulekwa ; Alvin Asiimwe, asoma S5 mu Trinity Senior Academy e Bwebajja ne Emmanuel Junior Ahimbisibwe, asomera e Canada bwe baatuuse mu kibuga Addis Ababa ku Lwokutaano, bassiddwa mu mmotoka ne batwalibwa ennyonyi ey’ekika kya Boeing 737 MAX 8 we yagwa ku kyalo Tulu Fara ekiri mu kilomita 60 (ze mayiro 40) mu buvanjubwa bw’ekibuga Addis Ababa.

Baatwaliddwa wamu n’akulira ebyobulamu mu kitongole kya Poliisi, Dr. Moses Byaruhangane mukulu w'Omugenzi era nga ye muwandiisi wa Yunivasite y'e Soroti, James Okello.

Ebifaananyi byabwe nga bali mu kifo ennyonyi we yattira omuntu waabwe, baataddewo omukutu gwa 'whatsapp' ne babiweereza aba famire abasigadde mu Uganda nga bwe balinda evvu ly’omugenzi kubanga baategezebwa dda nti omugezi omuliro gwamwokya yenna n’afuuka vvu.

Ng'ayita ku mukutu guno, Okello, yategeezezza aba famire nti, kkampuni ya Bungereza eya 'Blake' eyaweereddwa omulimu gw'okubaggyako endagabutonde yabakozeeko era nga balinda kubawa bisigalira bya muntu waabwe bakomewo nabyo babiziike.

Okusinziira ku mwannyina w'Omugenzi Peter Elamu, basuubira nti mu bbanga lya wiiki emu, bajja kuba baweereddwa ebisigalira by'omuntu waabwe omwoyo gubakke.

Yagasseeko nti, basazeewo nga ffmire okugira nga bayimiriza enkiiko zonna ez'okuteesa ku kifo omugenzi w'alina okuziikibwa okutuusa nga bafunye ebisigalira bye.

Kino kyaddiridde maama w'Omugenzi Esther Amato, okugamba nti muwala we yali yamusaba aziikibwe ku butaka e Kalaki, ekisangibwa mu disitulikiti y'e Kaberamaido ate ng'abafamire w'eyali bba w'OmugenziAlex Kamujuni, baagala omugenzi aziikibwe bba we yaziikibwa e Kitwe, ekisangibwa mu disitulikiti y'e Ntungamo.

Ate gavumenti ya Ethiopia yategese okusabira abagenzi bonna 157 abaatokomokera mu nnyonyi eno ng’okusaba kwategekeddwa mu Eklezia ya Holy Trinity Cathedral mu kibuga Addis Ababa wakati mu biwoobe n’okwaziraana okuva mu behhanda z’abagenzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab2 220x290

Nnamwandu w'abaana ababiri ali...

Nnamwandu w'abaana ababiri ali mu kattu e Lwengo

Lab2 220x290

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe...

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe obuliyo

Hot2 220x290

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe...

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe bafuna

Buk2 220x290

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi...

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi 40 ez’okwekulaakulanya

Jip2 220x290

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza...

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza