TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Agasirwe alumirizza Kayihura okuwa Kitatta abaserikale okumukuuma

Agasirwe alumirizza Kayihura okuwa Kitatta abaserikale okumukuuma

By Musasi wa Bukedde

Added 18th March 2019

Agasirwe alumirizza nti byonna bye yakola yakoleranga ku biragiro bya Kayihura wadde nga tebyali mu buwandiike kubanga Kayihura yali mukaawe nga tayinza kugaana ky’amulagira.

Monday2 703x422

Agasirwe ng'alayira mu kkooti y'amagye e Makindye.

BYA MARGRET ZALWANGO

OFIISA wa poliisi Nixon Agasirwe alumirizza Kayihura ku kuwa Kitatta abaserikale ba poliisi okumukuuma.

Agasirwe abadde mu kkooti y’amagye e Makindye n’ategeeza nti ddala kituufu yalina abaserikale b’emmundu babiri era yabafuna ku biragiro by’eyali omuduumizi wa poliisi, Gen. Edward Kale Kayihura.

Wabula eky’okubeera n’emmundu ebbiri ezaasangibwa n’omuserikale Ngoobi Sowali, Agasirwe akigaanyi n’ategeeza nti ye yalagira Ngoobi aweebwe emmundu emu ekika kya baasitoola ng’endala eya AK47 tamanyi gye yagiggya.

Agasirwe alumirizza nti byonna bye yakola yakoleranga ku biragiro bya Kayihura wadde nga tebyali mu buwandiike kubanga Kayihura yali mukaawe nga tayinza kugaana ky’amulagira. Byonna abyogedde nga Kitatta anyenya mutwe mu kaguli mwabadde ne banne.

Kkooti eno ekubirizibwa Lt. Gen. Andrew Gutti eyongezzaayo omusango okutuusa nga March 25. Bonna bazziddwa mu kkomera ne Agasirwe waakwo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Apass1 220x290

A Pass yeegobye mu luyimba lwa...

A Pass atabukidde Bebe Cool ku luyimba lwa ‘Corona Distance’, amulanga kumugattika na Fresh Daddy gw'ayita kazannyirizi...

A Pass yeegobye mu luyimba lwa...

A Pass atabukidde Bebe Cool ku luyimba lwa ‘Corona Distance’, amulanga kumugattika na Fresh Daddy gw'ayita kazannyirizi...

Kagame 220x290

E Rwanda bongezzaayo kalantiini...

Gavumenti ya Rwanda yalangiridde nti eyongezzaayo ennaku abantu ze balina okumala nga tebava waka okutuuka April...

W1240p169s3reutersmedianet68 220x290

Coronavirus: World Bank ewadde...

Bbanka y’ensi yonna yawadde Kenya obuyambi bwa doola za Amerika obukadde 50 okuyambako mu kutangira okulwanyisa...

Kyuka 220x290

Abantu 1,000 bafudde Corona mu...

ABANTU 1,047 olufudde mu Amerika ebintu ne bikyuka. Trump obuyinza bw’okuteekawo kalantiini n’okusibira abantu...