TOP

Ab’e Mpererwe baloopye OC wa poliisi

By Musasi wa Bukedde

Added 18th March 2019

ABAKULEMBEZE b’ekyalo kye Nammere e Mpereerwe balaze obutali bumativu kw’atwala poliisi y’omu kitundu kyabwe gwe baloopye mu bakama be nga bagamba nti emirimu gimulemye.

Makulu 703x422

Ekitundu ky'ebbaluwa n'abaataddeko omukono. Mu katono ye Dickens Tar gwe beemulugunyaako.

Ssentebe w’ekitundu Charles Kyobe n’akakiiko ke baawandiikidde DPC w’e Kawempe ebbaluwa ne bamulaga obutali bumativu eri omuserikale we Dickens Tar atwala poliisi y’e Nammere gwe bagamba nti obuvunaanyizibwa bwe alabika tabumanyi.

Kyobe yategeezezza nti OC amaze mu kitundu emyaka 4 ng’obuzibu obuliwo yagaana okukolagana n’abakulembeze ba LC ng’era bbo abatwala ng’abatali bakulembeze.

Yagasseeko nti omwezi oguwedde baawandiikira DPC nga balaga obutali bumativu ku nkola y’omuserikale we ne bamukyusa okugenda e Maganjo ng’eyali e Maganjo ne bamutwala e Nammere yamala olunaku lumu ne bakomyawo Tar.

“Poliisi tugyetaaga mu kitundu wabula omuserikale agitwala alina ebigendererwa bye ebirala.

Akwata abantu n’ekigendererwa ky’oku-baggyamu ssente. Obubondo bw’amayumba 10 yabulwanyisa ekivuddeko ebyokwerinda okuddirira mu kitundu, abaserikale mu kifo ky’okukuuma abantu yabagaba mu bagagga ab’ebikomera gy’afuna ssente buli mwezi n’okukolagana ne ba Crime Preventer okukwata abantu,” Kyobe bwe yategeezezza.

Stephen Kazibwe omu ku batuuze yategeezezza nti baludde nga beemulugunya ku nkola y’emirimu gya OC Tar gwe yagambye nti mu kusooka yali mulungi ng’abatuuze bamwagala gye bifundikiridde ng’ataddewo oluwonko wakati w’abakulembeze ba LC, Poliisi n’abatuuze.

John Balibumpe akulira ebyokwerinda ku kyalo yategeezezza nti poliisi ebafuukidde ekizibu kuba n’emisango gy’ababbi b’enkoko y’egikolako, okukwata abantu n’abasiba emiguwa n’abakuba ng’okubayimbula bamala kusasula ssente okuva 30,000/.

Yagasseeko nti Tar bwe baamala okumukyusa ate n’akomawo n’akuba n’olukiiko n’ekigendererwa ky’okulaga mukama we nti ekyalo kikyamwagala. Ebyembi, ku b’akakiiko ka LC konna tewali yaliyo nga n’abatuuze abasinga baaluzira. Eddie Ssegirinya omu ku baakwatibwa poliisi n’emukuba yategeezezza nti:

“Si kuwayiriza OC, nsobola okumulumiriza nti okunkwata yansanga ku mulimu gwange n’amenya ekifo kyange oluvannyuma n’atusiba ku miguwa ng’okuva ku poliisi twasasula ssente. Bw’aba yeegaana bakama be bampite naye abeerewo mulumirize,” Ssegirinya bwe yategeezezza

RPC AYOGEDDE

Nganizi atwala poliisi mu mambuka ga Kampala yategeezezza Bukedde ku ssimu nti waliwo abatuuze abaagamba nti OC tebamulinaako buzibu n’asuubiza abatuuze nga bw’agenda okukola ku nsonga eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA