TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Maama eyatta abaana be ababiri ayimbuddwa abatuuze ne batabulwa

Maama eyatta abaana be ababiri ayimbuddwa abatuuze ne batabulwa

By Musasi wa Bukedde

Added 18th March 2019

Omukazi eyasala abaana be ng’embuzi, emirambo n’agyebasa mu kisenge ky’ennyumba ya taata we (Jjajja w’abaana) yamazeeko abatuuze b’omu kibuga ky’e Kamuli ebyewungula, bwe yakomyewo ku kyalo nga yeekaaliisa nga bw’akubira abatuuze ka ‘jjambo.’

Gatta 703x422

Nakato ne bba Baleseki bwe yali tannatta baana baabwe.

Bya TOM GWEBAYANGA

Kasifa Nakato Kayima ye yeekaalisirizza mu nguudo z’ekibuga ky’e Kamuli n’aleka abantu nga bawuniikiridde nga beebuuza kwe baasinzidde okumuyimbula.

Nakato 28, eyasala abaana be Muhamad Waibi 4 ne Ashraf Mukoza 2, obulago mu 2016.

Yeekaalisizza mu nguudo eza zooni y’e Industrial Area n’eye Busekiti mu Southern Division nga bw’awuubira abatuuze, olwo n’ayolekera ewa mutoowe e Busekiti.

Eyo teyabandaddeyo n’akozesa ekkubo lye limu nga bw’asiibula abaali baliraanwa be nga kw’atadde n’okubasuubiza nga bw’agenda okuddayo.

ETTEMU YALIKOLA MISANA TTUKU

Nakato yaggya abaana ku Bright Future Infant School n’abatwala ewa jjajjaabwe (amuzaala), Hajji Yasin Kayima mu Mulamba Zooni, n’abasala ng’embuzi.

Yalimba abasomesa nti abatwala kumira makerenda g’omusujja ne babamuwa kyokka nga yali agenda kubatta.

Ettemu yalikola yeetegese bulungi kubanga nga wabulayo olunaku lumu abatte, yatwala ekiso n’akiwagala bulungi, enkeera n’atuukiriza ‘misoni’ ye. Olw’amala okubatta n’adduka nga poliisi yamukwatira Busia gye yali yeekukumye.

BAAMUKEBERA NGA MULAMU

Oluvannyuma baamutwala mu ddwaaliro ly’abalalu e Butabika abasawo ne bakakasa nti mulamu bulungi, kwe kumuzza e Kamuli awerennembe no gw’obutemu.

Omulamuzi Sheilla Angura yamusomeramu omusango kyokka n’adda mu kwefuula omulalu n’agezaako n’okwesuula mu kaabuyonjo y’oku kkooti, n’amusindika ku alimanda mu kkomera ly’e Kamuli.

Wabula engeri gye yaggyibwa e Kamuli n’atwalibwa e Kirinya teyategeerekeka, wabula omwogezi wa poliisi mu Busoga North, Michael Kasadha, agamba nti baamutwala agasimbagane n’Omulamuzi wa Kkooti Enkulu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA