TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bp Luwalira akuutidde abakristaayo okubulira enjiri ey'amazima

Bp Luwalira akuutidde abakristaayo okubulira enjiri ey'amazima

By Musasi wa Bukedde

Added 18th March 2019

Bp Luwalira akuutidde abakristaayo okubulira enjiri ey'amazima

Lam2 703x422

Okubulirira kuno kukoleddwa omulabirizi Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira,asinzidde ku mukolo gw’okuggulawo  n’okusimba ejjinja ku kkanisa ya St. Peter’s Lugoba C.O.U mu Bussaabadinkoni  bw’e Kazo mu bulabirizi bw’e Namirembe.

“Ebimu ku biteekeddwa okukolebwa mu kkanisa eno kwe kubulira enjiri mu mazima,elokola abantu.

Ekkanisa eno  ya kristu siyammwe era buli kye mukola ,kirina okuba nga kigulumizza katonda, Bp Luwalira bw’agambye.

 Alabudde abakulembeze okugenderera engeri gye basalawo , kuba kulina ky’amannyi nnyo  mubuweereza,ogendera ku birowoozo by’abantu oba ddobbozi lya Katonda?

Luwalira akubirizza abakristaayo okunwyeza enkolagana yabwe ne katonda ne bantu bannabwe.Oli luuyi wa mu nkolagana yo ne mukyala wo,n’omwami wo, ne katonda wo?

Oluvanyuma asimbye   amayinja abbiri  ku kkanisa ya St Peter’s ,elimu libadde ely’akwebaza Francis Drake Kaggwa Kabugo omukristaayo eyawaayo ettaka kwe bazimbye ekkanisa ,ely’okubiri ly’abadde lyakutongozza lunaku ekkanisa lwe yaguddwawo mu  butongole.

Atongozezza  n’emmotoka ekika kya Toyota Noah  nnamba UAM 105A abakristaayo gyebagulidde  Harriet Caroline Mwanje omubuliizi w’ekkanisa eno.

 

Mwanje agambye nti  ekkanisa emazze emyka 40 ng’ezimmibwa era wabaddewo  okusomozebwa ,naye katonda ababedde omulimu nabagumaliriza.

Asiimye abakristaayo olw’okukwasizza awamu  n’okwongera okukkirizza kristu abeere omulokozi wabwe.

Basonze n’essente 257,100/=  n’obweyamu obwasobye mu bukadde butane ku  bukadde 11 ezetagibwa okufuna ekyapa ky’ettaka kwebazimbye ekkanisa.

Omukolo gwetabyeko ebikonge  bya baweereza okuli ; Rev .Micheal Wasswa Kisawuzi ow’obusumba bw’e Kazo, Eng .Paul Kawagga omukubirizza  w’obussaabadinkoni , Samuel Katende omukubiriza w’obusumba , Rev. David Kimuli owa Busega Maytrs mu Busumba bw’e Nateete n’abakristaayo okuva mumakkanisa agali wansi w’obusumba buno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kop2 220x290

Awonye okwokebwa abayizi be

Awonye okwokebwa abayizi be

Agaba 220x290

Amagye gazudde ebipya ku ttemu...

ABEEBYOKWERINDA bazudde ebirala ku ngeri omusawo wa IHK, Catherine Agaba gye yatemuddwaamu oluvannyuma lw’ennaku...

Funa1 220x290

Omuwala omulala bamuwambye ne bamutta...

OMUWALA omulala azuuliddwa ng’attiddwa mu bukambwe omulambo gwe ne bagusuula okumpi n’omwala e Namasuba mu Kikajjo....

Papa 220x290

Maama Fiina agulidde Abasiraamu...

ABASIRAAMU baweereddwa amagezi okukomya okulowooleza mu kulwanagana ng’engeri yokka ey’okumalawo obutakkaanya nga...

Stella 220x290

Stella Nyanzi agobye abamweyimirira:...

STELLA Nyanzi yeecwacwanidde ku kkooti ya Buganda Road n’agaana mikwano gye n’aba famire ye okuddamu okumweyimirira...