TOP

Mubuulire enjiri ey'amazima - Bp Luwalira

By Musasi wa Bukedde

Added 18th March 2019

“Ebimu ku biteekeddwa okukolebwa mu kkanisa eno kwe kubuulira enjiri mu mazima, erokola abantu."

Bpluwalirangakawasaomubuliizimwanjeebisumuluzzobyemmotokaabakristaayogyebamugulidde 703x422

Bp. Luwalira ng'akwasa omubuulizi Caroline Mwanje ebisumuluzo by'emmotoka Abakristaayo gye baamugulidde. Mu katono waggulu bw'afaanana.

Bya REGINAH NALUNGA

ABAKKIRIZA babuuliriddwa  bulijjo okubuulira enjiri ey’amazima. Okubuulirira kuno kukoleddwa omulabirizi Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira, ku mukolo gw’okuggulawo  n’okusimba ejjinja ku kkanisa ya St. Peter’s Lugoba COU mu Bussaabadinkoni  bw’e Kazo mu bulabirizi bw’e Namirembe.

“Ebimu ku biteekeddwa okukolebwa mu kkanisa eno kwe kubuulira enjiri mu mazima, erokola abantu. Ekkanisa eno  ya Kristu si yammwe era buli kye mukola kirina okuba nga kigulumiza Katonda," Bp. Luwalira bw’agambye.

Alabudde abakulembeze okugenderera engeri gye basalawo, kuba kulina ky’amaanyi nnyo  mu buweereza. Ogendera ku birowoozo by’abantu oba ddoboozi lya Katonda?

Luwalira akubirizza Abakristaayo okunyweza enkolagana yaabwe ne Katonda ne bantu bannaabwe. Oli luuyi wa mu nkolagana yo ne mukyala wo n’omwami wo ne Katonda wo?

Oluvannyuma asimbye  amayinja abiri  ku kkanisa ya St. Peter’s ng’erimu lya kwebaza Francis Drake Kaggwa Kabugo Omukristaayo eyawaayo ettaka kwe bazimbye ekkanisa, ery’okubiri ly’abadde lyakutongoza lunaku ekkanisa lwe yagguddwaawo mu  butongole.

Atongozezza  n’emmotoka ekika kya Toyota Noah  nnamba UAM 105A Abakristaayo gye baagulidde  Harriet Caroline Mwanje omubuulizi w’ekkanisa eno.

Mwanje agambye nti  ekkanisa emaze emyaka 40 ng’ezimbibwa era wabaddewo  okusomoozebwa naye Katonda ababedde omulimu na bagumaliriza. Asiimye abakristaayo olw’okukwasiza awamu. Basonze 257,100/=  n’obweyamu obwasobye mu bukadde butaano ku  bukadde 11 ezeetaagibwa okufuna ekyapa ky’ettaka kwe bazimbye ekkanisa.

Omukolo gwetabyeko ebikonge  by’abaweereza okuli; Rev. Micheal Wasswa Kisawuzi ow’obusumba bw’e Kazo, Ying. Paul Kawagga omukubiriza  w’obussaabadinkoni, Samuel Katende omukubiriza w’obusumba , Rev. David Kimuli owa Busega Martyrs mu Busumba bw’e Nateete n’Abakristaayo okuva mu makanisa agali wansi w’obusumba buno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sema 220x290

Mesach ekivvulu kimuwuuba

OMUYIMBI Mesach Ssemakula amanyiddwa nga Golden Papa kati gwe baawadde n’ekitiibwa kya ‘‘Sir’’ bw’oba omunoonya...

Funa 220x290

Square Milez ne Deborah Kandi temwekola...

ABAYIMBI Deborah Nakandi eyeeyita Deborah Kandi ne Kisaakye Micheal Joseph amanyiddwa nga Square Milez ebintu bye...

Baba 220x290

Swengere ne Maama Kalibbala bali...

HUSSEIN Ibanda amanyiddwa nga Swengere ne munnakatemba munne Maama Kalibbala bali luno.

Lap2 220x290

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka...

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka

Siralexferguson1132188 220x290

Aba ManU bampisaamu amaaso - Sir...

EYALI omutendesi wa ManU, Sir Alex Ferguson ayogedde ku mbeera eyali ttiimu ye gy'erimu n'agamba nti ekwasa ennaku....