TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kabushenga bamwongedde ekisanja ky'okutegeka emisnde gya Kabaka

Kabushenga bamwongedde ekisanja ky'okutegeka emisnde gya Kabaka

By Dickson Kulumba

Added 18th March 2019

Kabushenga bamwongedde ekisanja ky'okutegeka emisinde gya Kabaka

Kab2 703x422

Katikkiro ng'abuuza ku Robert Kabushenga

OMUKUNGU Robert Kabushenga nga y’akulira Vision Group efulumya ne Bukedde akkiriza obuvunanyizibwa obwamwongeddwa Kabaka okukuliramu enteekateeka y’emisinde gy’amazaalibwa ge ag’emyaka 64.

Omukolo kweyeyamidde okutukkiriza obuvunanyizibwa buno gwabadde Bulange- Mmengo eggulo nga gwakuliddwamu Katikkiro Charles Peter Mayiga naasaba abagagga mu ggwanga lino okuvaayo bagule emijoozi egiwera kubanga kaweefube w’emisinde wakutumbula bya bulamu.

“ Ssebo Katikkiro obuvunanyizibwa buno ngenda kubutuukkiriza n’okusingawo. Otuwadde tageti ya bantu 60000 naye ndaba nga tusobola okusingawo. Nsaba abagagga abalina ssente bagule emijoozi kubanga tulina bangi abasobola okudduka naye nga tebalina busobozi bwa nsimbi zidduka ate newabeerawo abalina ssente nga tebasobola kudduka,” Kabushenga bweyategezezza.

Yayongedde nategeza nti olukiiko lwe lugenda kukulowooza ku ky’okusobozesa abantu abali mu bitundu bya Uganda naye nga tebasobola kutuuka mu Lubiri,okudduka ate naabo abali wabweru wa Uganda okuli South Africa, Bungereza, Amerika n’ebitundu by’ensi ebirala kubanga bonna bamukubira amassimu nga baagala kwetaba mu mpaka zino.

Emisinde gy’omulundi guno gya mulundi gwa mukaaga mu nteekateeka eri ku mutindo era gyonna Kabushenga n’olukiiko lwe yabadde omuteesiteesi omukulu. Omukolo guno gwetabiddwako David Mpanga akulira olukiiko olutegesi lw’amazaalibwa ga Kabaka, Minisita w’emizannyo Henry Ssekabembe n’abalala.

KATIKKIRO MAYIGA ATADDEWO EBIRAGIRO EBINATAMBUZA OBULUNGI EMISINDE:

Mayiga yasinzidde ku mukolo guno nalagira ebitongole ebina ebivunanyizibwa ku kutegeka emisinde gino okubeera nga biwuliziganya okusobola okutambuza obulungi omulimu guno.

Katikkiro yagambye nti Minisitule y’ebyemizannyo,minisitule y’ebyensimbi (Eggwanika), Majestic Brands n’olukiiko olutegesi lw’emisinde buli kitongole kirina obuvunanyizibwa obwenjawulo mu nteekateeka era buli kimu kirina okukola obuvunanyizibwa bwaakyo.

“Buli omu emirimu gye girina okulambikibw aobulungi. Kyekibadde kitutawanya oluusi. Aba minisitule ey’ebyemizannyo bebatuteekerateekera emizannyo bwegirina okutambuzibwamu, okunoonya ebitone n’ebirala. Majestci Brands obuvunanyizibwa bwaabwe kwe kukuuma ekifananyi kyaffe eky’Obwakabaka bakiggyemu omuganyulo, olukiiko lwa Robert Kabushenga  lwe lukola ku nteekateeka;- tunadduka tutya,tunayitawa n’ebirala ate eggwanika nerikola ku byensimbi. N’olwekyo ebiti bino ebikola ku misinde birina okuwuliziganya ku buli nsonga ate buli lunaku,” Mayiga bweyalambise engeri emisinde gyegirina okutambuzibwamu.

Katikkiro era yayongedde nategeza nti Obwakabaka bwakwongera okulaba nga  bannamukago mu misinde gino nga bongera okuganyulwa mu nsimbi zebateekamu ate n’Obwakabaka nga bwebutambuza emirimu gyaabwo.

“Okulabika kwa bannamikago kikulu nnyo eri enteekateeka zaffe. Abantu gyebakoma obungi abadduka mu misinde gyetwagala ne bannamikago bongere okulabibwa eri abantu n’omuntu ali e Kyebongotoko ategere nti Obwakabaka bukolagana ne Postbank, Vision Group(Bukedde), Airtel nabo nebasikkirizibwa okubawagira.” Katikkiro Mayiga bweyagaseeko.

Ku bulwadde bwa nnalubiri, Mayiga yagambye nti amaanyi galina okwongerwamu buli muntu okulaba nga bulinyibwa ku nfeete.

EMIJOOZI N’OBUSAWO BITANDIKA OKUTUNDIBWA KU LWOKUSATU:

Kabushenga yategezezza nti okutandika n’olwokusatu March 20,2019 (enkya) emijoozi gigenda kutandika okutundibwa mu bifo eby’enjawulo okuli ekitebe kya Vision Group efulumya Bukedde mu kibangirizi kya bannamakolero, e Bulange- Mmengo, ku kitebe kya Postbank ekikulu ku Nkurumah Road n’amadduka ga Airtel.

Kabushenga yalabudde abantu obutakkiriza abaguza mujoozi gwokka wabula webaguze ebintu bino walina okubeerawo;- omujoozi, akasawo n’eccupa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Plane22 220x290

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi...

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi

Ssaavanaluvule1 220x290

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi...

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi ne batalabikako alula!

Img2247 220x290

Eyatutte omwana okumutuuma amannya...

OMUWALA aludde ng'alimba omuvubuka nga bw'alina olubuto lwe aliko omwana gw'amutwalidde wabula ne gamwesiba bwe...

Throw 220x290

Abavubira ku nnyanja Kyoga basatira:...

ABAVUBI ku nnyanja Kyoga basattira olw’amagye okulangirira nti essaawa yonna gayingirawo okufuuza envuba embi....

Malemabiriizi9 220x290

Mabirizi azzeeyo mu kkooti ku bya...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi azzeeyo ku kkooti Ensukkulumu n’ateekayo omusango ayagala esazeemu ensala y’Abalamuzi...