TOP

Taata alumirizza bawala be okumukuba

By Saul Wokulira

Added 18th March 2019

Taata alumirizza bawala be okumukuba

TAATA alumirizza bawala be okumukuba ne bamunyiga obusajja okukakkana nga bamulaaye. 

Christopher Waira omutuuze mu Bbaale West zone mu ggombolola y'e Bbaale mu disitulikiti y'e Kayunga agamba alifa teyerabidde obulemu bawala be bwe baamutuusaako. 

Waira agamba nti baamukuba ekigwo omu n'amusonseka omukono mu mpale n'ayuza ekisawo ensogo n'efulumayo. 

Baamukuba nga bamulanga kutunda kibanja omugenzi Nakato Robinah kyeyabalekera era n'enyumba n'awasizaamu omukazi omulala sso nga ebintu byonna zaali ntuuyo za nyabwe n'ebirala yabigabana nga bya busika okuva ewabwe.

Wabula abawala nabo beegaanyi okulaawa kitaabwe ne bamuyita omulimba kubanga omuntu gwe baalaawa ate yafuna  omukazi omupya era nga kati bazadde n'abaana babiri.

      “Oyo taata mulimba nnyo, oba nga ddala twamukuba ne tumukosa ebitundu by’ekyama abo abaana abato ani yabamuzaalira, baakukyalo oba,” Abaana nga bakulembeddwa Esther Nambuya bwe baagambye.

Taata abaanukudde nti Katonda yamuyamba n'asigaza ensigo emu era ekyo tekimulobera kuzaala.

Bino bibadde mu lukiiko olutuuziddwa avunanyizibwa ku kukuuma n'okulondoola ebintu by'abafu e Kayunga Collins Kafeero. 

     Abaana be beekubira enduulu mu ofiisi ya Kafeero nga beemulugunya nti kitaabwe atunze ekibanja kya nyabwe okukimalawo. 

      Kafeero abalung'amizza nti abaagula ku kibanja kino era nga babadde batandise okuzimbako amayumba baagula mpewo n'alagira Waira okubaddiza ssente.

      Awadde abaana ebbeetu okwegazanyiza mu kibanja kino era n'enyumba n'agibaddiza n'alagira Waira afulumye abantu be abatwale mu kifo ekirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA