TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akabondo ka NRM Buganda Caucus katabudde ababaka Buganda Caucus

Akabondo ka NRM Buganda Caucus katabudde ababaka Buganda Caucus

By Kizito Musoke

Added 19th March 2019

ABABAKA ba NRM abali mu lusirika e Kyankwanzi okutondawo akabondo k’ababaka b’ekibiina ekyo abava mu Buganda, kitabudde bannaabwe abataagenze ne bagamba nti kyakoleddwa kunafuya ‘Buganda Caucus’ n’okubonereza ababaka abaagaana okuwagira eky’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.

Caucus 703x422

Omubaka Muyanja Sssenyonga ne James Kakooza

Ababaka ba NRM baatonzeewo akabondo akaabwe akataabaddeewo akagenda okugatta ababaka abava mu Buganda ke baatuumye ‘NRM Buganda Caucus’.

Okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa omwogezi wa NRM, Rogers Mulindwa omulimu gw’akakiiko akaalondeddwa gwa kukwataganya mirimu gya kibiina mu Buganda.

Abaalondeddwa baaweereddwa obuvunanyizibwa bw’okuperereza Gavumenti ya wakati okulaba ng’eteeka pulojekiti z’okukulaakulanya Buganda n’okukwatagana n’Obwakabaka mu kaweefube w’okuwagira emirimu gy’okwekulaakulanya.

Olukiiko luno olwatudde ku Ssande akawungeezi baalonze James Kakooza (Kabula) ku bwa ssentebe ng’amyukibwa Syda Bbumba (Nakaseke South).

Muyanja Mbabaali (Bukoto South) muwanika, Joseph Kasozi Muyomba (Bukoto Mid-West) muwandiisi, Simeo Nsubuga (Kasanda South) waamawulire, Dr. Michael Bukenya mmemba ne nampala wa Gavumenti, Ruth Nankabirwa yalondeddwa ku bwammemba nga Ex-Official.

Omuyima w’akabondo k’ababaka ba NRM ye Sam Kuteesa (Mawogola North) era minisita w’ensonga z’ebweru w’eggwanga.

AKAKIIKO KANAFUYA BUGANDA CAUCUS?

Omubaka wa Kassanda South, Simeo Nsubuga yagambye nti obukulembeze bw’akabondo k’ababaka abava abava mu Buganda akagatta endowoozo z’ebyobufuzi zonna kakyaliwo era nga Muyanja Senyonga ye ssentebe waako.

Yagambye nti ekyakoleddwa baayagadde kwongera kwetereeza munda mu NRM n’okutema empenda endala ez’okutwalamu Buganda mu maaso.

Kyokka Mary Babirye Kabanda (DP) yagambye nti ekyakoleddwa tekyazze mu mutima mulungi era akirabamu ekigendererwa ky’okwawula mu babaka ba Buganda.

Yagambye nti ng’aba DP nabo bandibadde basobola okukola obubondo obwefananayiriza naye tebakisobola kuba bakimanyi bulungi nti Kabaka y’abagatta nga tebafudde ku ndowooza za byabufuzi.

Francis Zaake (Mityana Munisipaali) yagambye nti: Mu mbeera nga ssentebe Muyanja Senyonga, omumyuka we Sarah Nakawunde Temulanda n’abakulembeze mukaaga ku munaana nga bamaze okugaana okuggya ekkomo ku myaka gya pulezidenti, ebintu bye kika kino tebyewuunyisa.

Nakawunde (NRM) nga naye yabaddeyo e Kyankwazi yagambye nti tasuubira nti olukiiko lwabwe lugenda kunafuwa wadde ng’abantu bangi balina endowooza bwetyo era asuubira nti abaalondeddwa bagenda kwongera ku ddoboozi lyabwe mu kukulaakulanya Buganda.

Ensonda e Kyankwanzi zaategeezezza nti ng’okulonda tekunnabeerawo, ababaka ba NRM mu Buganda baasoose kunenya Muyanja Senyonga olw’okunyooma ekibiina n’agaana okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti n’omumyuka we Nakawunde wadde ng’ekibiina mwe bava kyali kisazeewo bawagire okugikwatako.

Ku lukiiko olw’abantu 9 aba Buganda Caucus, ababaka 3 be baawagira okuggyawo ekkomo mu myaka nga kuliko Haruna Kasolo, Amos Lugoloobi ne Simeo Nsubuga ate abalala 6 okuli Muyanja, Nakawunde, David Lukyamuzi, Babirye Kabanda, Florence Namayanja ne Kato Lubwama ne bakiwakanya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Yawe 220x290

Obukooti bw'oku mazzi mulimu ebicupuli...

OBUSEERE n'ebicupuli by'obukooti obutangira abantu okubbira mu mazzi bitabudde abeeyambisa entambula y'oku mazzi....

Bannamateeka ba Bannansi ba Rwanda...

Bannamateeka ba Bannansi ba Rwanda abaakwatibwa balaajanye

Lab2 220x290

Erias Lukwago alabudde abavubuka...

Erias Lukwago alabudde abavubuka abatava ku Whats App ne Facebook

Hop2 220x290

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa...

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa

Jip1 220x290

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde...

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde obutwa