TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni akkirizza obutavuganyizibwa mu kalulu ka 2021

Museveni akkirizza obutavuganyizibwa mu kalulu ka 2021

By Muwanga Kakooza

Added 19th March 2019

PULEZIDENTI Museveni akkirizza obutavuganyizibwa ng’ekibiina kya NRM ky’akulembera kironda omuntu anaakikwatira bendera y’okuvuganya ku Bwapulezidenti bw’eggwanga mu 2021.

Jhfewt68400400 703x422

Pulezidenti Museveni

Kino kiddiridde  akakiiko ka NRM akafuzi (CEC) n’ababaka b’ekibiina kino mu palamenti okusaba alame kuvuganyizibwa mu kulonda kusunsula abanaakwata bendera y’ekibiina okuvuganya ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga.

Akakiiko ka NRM akafuzi (CEC) akatuula mu kuumiro ly’ebisolo erya Murchision Falls National Park mu bukiikakkono bwa Uganda n’ababaka b’ekibiina mu palamenti abali mu lusirika e Kyankwanzi be baasembye pulezidenti Museveni aleme kuvuganyizibwa mu kulonda omuntu agenda okukwatira ekibiina bendera mu kamyufu asobole okwesimbawo ku bwa Pulezidenti mu 2021.

Wakati mu mizira Pulezidenti Museveni abadde eyogerera mu lusirka luno e Kyankwanzi agambye: ‘’ Neebaza bannange mu CEC n’akabondo k’ababaka ba NRM mu palamenti  olw’okuwaayo erinnya lyange nsobole okwongera okuba ne kyengattako  mu lugendo lwaffe lwe tuliko olw’ekigendererwa (misoni).

Ndi musanyufu olw’obwesigwa bwe muninnamu era olw’okuba olugendo luno ndwekakasa  bulungi era nga nina n’obusobozi nzikirizza okubawereza..’’. 

Kino kitegeeza nti singa olukiiko lwa NRM ttabamiruka olusalawo ekisembayo lukiriza ebyasaliddwaawo , Pulezidenti tajja kuvuganyizibwa mu kibiina bwe kinaaba kironda anaakwata bendera ya NRM avuganye ku bwa Pulezidenti mu 2021.

Museveni ng’ayogera ku kino e Kyankwanzi yawunzise : ‘’ Nnina okumatizibwa nti ffena awamu tusobola okufuula NRM ekibiina ekibiina ekinywevu ekitayinza kuyuuzibwa baakirumbagana singa ebintu tubitunuulira bulungi naddala nga tukola ku nsonga z’abavubuka n’okumalawo ebbula ly’emirimu’’.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bannamateeka ba Bannansi ba Rwanda...

Bannamateeka ba Bannansi ba Rwanda abaakwatibwa balaajanye

Lab2 220x290

Erias Lukwago alabudde abavubuka...

Erias Lukwago alabudde abavubuka abatava ku WhatsAapp ne Facebook

Hop2 220x290

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa...

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa

Jip1 220x290

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde...

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde obutwa

Kop2 220x290

Awonye okwokebwa abayizi be

Awonye okwokebwa abayizi be