TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Amabibiro ga Isimba ne Bujagali gasuubirwa okusala ebbeeyi y’amasannyalaze

Amabibiro ga Isimba ne Bujagali gasuubirwa okusala ebbeeyi y’amasannyalaze

By Musasi wa Bukedde

Added 19th March 2019

EBBIBIRO ly’amasannyalaze ery’e Isimba lisuubirwa okuggulwawo ku Lwokuna luno nga March 21, 2019 okusinziira ku Minisita w’ebyamasannyalaze, amafuta, amanda n’eby’obugagga eby’omuttaka, Ying. Irene Muloni.

Dw242k7wkair02u 703x422

Minisita yagambye nti ebbibiro lino bwe linaggulwawo, ebbeeyi y’amasannyalaze esuubirwa okukka ebitundu 17.45 ku buli 100 agootebwa mu maka n’agakozesebwa mu makolero. Kati agabadde ku 243.43, gajja kudda ku 200.93.

Yabadde ayogerera mu lusirika lw’akabondo k’ababaka ba Palamenti aka NRM olubumbujjira mu ttendekekero ly’eggwanga ery’obukulembeze e Kyankwanzi.

Yagasseeko nti ate ebbibiro ly’e Karuma nalyo bwe linaggwa mu June w’omwaka guno, olwo amabibiro gombi ganaaba gongeddeko megawatts 783 olw’okuba Isimba egenda kufulumya 183 ne Karuma 600.

Ying. Muloni yagambye nti Gavumenti egenda kwongerako ebbibiro lya Acwa ll erinaafulumya MW 47, Muzizi 44.7MW, Kikagati 16MW.

Nyagaka 5.5 MW, Nengo Bridge 5MW ne Ndugutu 4.8MW. Mu kiseera kino Uganda ekola amasannyalaze MW 951.

Ebbibiro lya Ismba ly’ebbibiro ery’okuna okuva ku nsibuko y’omugga Kiyira. Ng’erisooka lye lyali Owen Falls kati eryatuumwa Nalubaale eryaggulwawo mu 1954, eriri ku ludda lw’e Njeru mu Kyaggwe, ne kuddako erya Kiyira eriri ku ludda lw’e Jinja mu Busoga. Okwo ate kwe kwadda Bujagali eriri mu Busoga.

Bujagali akola MW 250. Kino kijja kuba kyongera okutuukiriza enkola ya gavumenti ey’okubunyisa amasannyalaze mu byalo, abantu bakome okwota amafuta nga bakozesa obutaala bwa tadooba, ekikka kyabwo ekibakwata mu mawuggwe ne kibalwaza akafuba n’endwadde endala.

Kino era kijja kubayamba okukendeeza okufumbisa enku ezitakyalabika okuggyako okutema emiti emibisi mu bibira so ng’edda enku zatyabibwanga zimaze okukala, nga kino kyongedde okwonoona obutonde bw’ensi.

Okwo kw’ossa nawookeera w’okwokya amanda amazeewo emiti naddala mu Buganda era nga kati abooki baago n’abasuubuzi babadde bamaze okusala ensalo nga batuuse ne Acholi mu bukiikakkono bwa Uganda, abaayo gye babakomezzaawo nga tebalinnya nga babagamba nti baleme okubamalirawo emiti gyabwe n’okubaleetera ekyeya.

Eky’omukisa , bangi bayize okukuba n’okuzimbisa bulooka eza seminti ezimanyiddwa nga “9X9,” naye nga zino ziba zeetaaga seminti n’omusenyu ate ng’obwetaavu bw’omusenyu butuusizza abamu okutandika okugusima mu ntobazzi gye gutakkirizibwa kusimwa gamba nga mu Lwera ku mbalama z’ennyanja Nalubaale n’omugga Katonga mu Masaka.

Pulezidenti Yoweri Museveni akiddihhanye lunye nti ekinaawonya Uganda obutafuuka ddungu kwe kukola amasannyalaze amangi ag’okwota, okufumba n’okukozesa mu makolero tuviire ddala ku kufumbisa enku n’amanda, olwo emiti gitojjere, giddemu okukola ebibira, ekinaasobozesa enkuba okutonnya, tuwone ekyeya, enjala n’okw’ahhanga amazzi nga bwe kibeera mu bitundu by’enkoola nga Bugerere, Buluuli, Ssingo, Gomba, Mawogola, Kabula ne Kooki.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A Pass yeegobye mu luyimba lwa...

A Pass atabukidde Bebe Cool ku luyimba lwa ‘Corona Distance’, amulanga kumugattika na Fresh Daddy gw'ayita kazannyirizi...

Kagame 220x290

E Rwanda bongezzaayo kalantiini...

Gavumenti ya Rwanda yalangiridde nti eyongezzaayo ennaku abantu ze balina okumala nga tebava waka okutuuka April...

W1240p169s3reutersmedianet68 220x290

Coronavirus: World Bank ewadde...

Bbanka y’ensi yonna yawadde Kenya obuyambi bwa doola za Amerika obukadde 50 okuyambako mu kutangira okulwanyisa...

Kyuka 220x290

Abantu 1,000 bafudde Corona mu...

ABANTU 1,047 olufudde mu Amerika ebintu ne bikyuka. Trump obuyinza bw’okuteekawo kalantiini n’okusibira abantu...

Whatsappimage20200402at65210pm 220x290

Bajjo ayagala Full-Figure amuliyirire...

Bajjo ayagala Full-Figure amuliyirire obukadde 500 lwa kumwonoonera linnya.