TOP

Abasawo boogedde ekyasse owa P7

By Musasi wa Bukedde

Added 19th March 2019

AKULIRA eddwaaliro lya Uganda Martyrs Hospital Lubaga, Dr. Andrew Ssekitoleko ayogedde ku byaviiriddeko omuyizi wa Kyengera Parents School okufa nga yaakatuusibwa mu ddwaaliro.

Baana 703x422

Gerald Ssegujja 14, abadde omuyizi wa P7 nga tannafa yasoose kulumizibwa mutwe ekyawalirizza abakulira essomero lino okusooka okumutwala mu kalwaliro ka Mirembe e Kyengera gye baamuggye okumwongerayo e Lubaga gye yafiiridde nga yaakatuusibwayo.

Abooluganda lw’omugenzi baavuddeyo ne balumiriza essomero okulagajjalira omwana waabwe.

Dr. Ssekitoleko yagambye nti, obulwadde obwasse Ssegujja bwa “Brain Aneurysm” buva ku kasuwa ku bwongo okwabika akavaako omusaayi okugenda mu bwongo.

Yagambye nti, obulwadde buno tebusosola mu myaka kyokka nga businga kukwata bantu abali waggulu w’emyaka 40 era nga buttirawo mu bwangu.

Yayongedeko nti mu Uganda emikisa mitono okujjanjaba omuntu aba afunye obulwadde buno n’awona wabula ssinga omulwadde aba ayanguyiddwa basobola okunuunamu omusaayi guno nga tegunasaasaana wadde ng’abasinga bamala ne bafa.

Okusinziira ku bubonero omwana ono bwe yabadde nabo ne bye bannyonyoddwa abasomesa n’abazadde nga yakatuusibwa e Lubaga, baakakasizza nti Ssegujja yafudde bulwadde buno.

Yayongeddeko nti, obulwadde buno omuntu azaalibwa nabwo wabula si kyangu kubuzuula mu mwana ng’akyali muto.

Obubonero bw’obulwadde buno mulimu; okulumizibwa omutwe, okusesema, okwesika, okulalambala ensingo, okuwulira kamunguluze n’okufuna ekifu ku maaso.

Ssekitoleko yawadde abazadde n’abakulira amasomero okujjumbira okutwala abaana baabwe mu malwaliro bakeberebwe nga tebannaba kulwala.

ABAZADDE ENSONGA BAZITUTTE KU POLIISI

Bazadde ba Ssekitoleko ensonga baazongeddeyo ku poliisi y’e Kyengera. Ritah Nankwanga yagambye nti, ab’essomero yabaguddeko omusango gw’okulagajjalira omwana we wadde ng’abessomero babyegaana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namu 220x290

Tuzudde enfo ya Mugisha eyattaowa...

Bosco Mugisha eyakwatibwa ku katambi ne Young Mulo nga batuga owa bodaboda, abadde n’enfo mu Ndeeba w’abadde asinziira...

Youngmulo 220x290

Akabinja ka Young Mulo kabadde...

AKABINJA ka Young Mulo, mu myezi mukaaga gyokka kabadde kaakatta abantu 11 mu Makindye ne Lubaga wokka!

Siiga 220x290

Boogedde ebifo gye batunda pikipiki...

Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti Mulo ne banne baabagambye nti pikipiki ze babadde babba...

Yomba1 220x290

Aba Flying Squad bakutte omulala...

AB’EKITONGOLE kya poliisi ekya Flying Squad Unit bongedde okukwata abagambibwa okutta ababodaboda n’okubabba. Ku...

Dybala 220x290

Juventus etaddewo obukwakkulizo...

ManU eyagala kugula Dybala wabula Juventus egamba nti erina okutuukiriza obukwakkulizo bwonna bw'eba yaakumutwala....