TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Amayumba kikumi ag'okusengulirwamu ab'e Bududa gawedde

Amayumba kikumi ag'okusengulirwamu ab'e Bududa gawedde

By Muwanga Kakooza

Added 19th March 2019

Amayumba kikumi ag'okusengulirwamu ab'e Bududa gawedde

AMAYUMBA kikumi agagenda okusengulirwamu abantu abasimatuka okubuutikirwa ettaka ly’olusozi Masaaba e Bududa gamaze okuzimbibwa era ganeda kubakwasibwa mu bbanga eritasussa wiiki satu.

Amayumba gano gabadde gazimbibwa ggye lya UPDF nga liyambibwako poliisi ya Uganda ku kyalo Bunambutye mu disitulikiti y’e Bulambuli.

Akulira omulimu guno Martin Candia, okuva mu kitongole ky’aba yimginiya ekya UPDF yakakasizza nti mu wiiki satu enju zijja kuba zimaze okuggwa zikwasibwe abantu. ‘’Zibulako kukuba pulasita na kusiiga langi’’ bwe yagambye.

Okusinziira ku Candia ,enguudo ezitwalayo abantu ,entindo,amazzi ,emyala n’amasanyalaze nabo bitereddwa mu kitundu .Buli nnyumba eri ku bwagagavu bwa yiika emu.Abakungu okuva mu ofiisi ya Katikiro wa Uganda ekola ku bigwa bitalaze nabo baalambudde ekifo okulaba omulimu we gutuuse.

‘’Okuzimba ekitundu ekisooka eky’enju kwatandika mu January 23 era ng’amagye gaalagirwa okuzimba enju 75 ate poliisi n’eragirwa kuzimba 25 zokka.’’Candia bwe yagambye.

 Mu wiiki satu buli famile ejja kuweebwa enju erimu ebisenge bibiri ebisulwamu ng’etudde ku bwaguuga yiika y’ettaka.

Omwogezi wa ofiisi ya Katikkiro wa Uganda ,Julius Muchunguzi, yebazizza poliisi n’amagye olw’omulimu guno. Enju 900 ze zisuubirwa okuzimba okusengulirwamu abantu bano era ng’omulimu gwakuwementa obuwumb

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...

Mushroomscanbeeatenfreshwebuse 220x290

Lya obutiko okuzimba obwerinzi...

Ensonga 4 lwaki olina okulya obutiko

Gugu 220x290

Museveni tayagala kuggya musolo...

PULEZIDENTI Museveni ategeezezza nti tawagira kya gavumenti okubinika amasomero n’amatendekero ag’ebyenjigiriza...

Ssentebesserwangaomubakawantenjerusouthfredbasekerdcmwanamoizanabakunguabalalangabatemaevvuunikeawagendaokuzimbibwaessomerowebuse 220x290

Gavumenti yaakuzimbira ab'e Kayunga...

Ab'e Kayunga bagenda kuzimbirwa essomero lya siniya lya bbiriyooni bbiri nga n'evvuunike lyaggwa okutemebwa

Abantungabalingizamuddirisaokulabaomulambogwakantonoekifsaulwokulira 220x290

Asse mukazi we naye ye yeetuga...

Omusajja atemyetemye mukazi we n'amutta n'amulesa ebbujje ery'emyezi musanvu