TOP

Eyagenda n'omusiguze akomyewo kufumba

By Saul Wokulira

Added 19th March 2019

Eyagenda n'omusiguze akomyewo kufumba oluvannyuma lw'okukimanya nti bba yawasizza omukyala mulala n'akomawo ne bebbi gw'eyazaala mu musiguze nti akomyewo kufumba gano maka ge.

 
MAAMA ow’abaana omusanvu eyadduka mu ddya n’agenda n’omusiguze emyaka esatu egiyise akomyewo ng’abuusa mwana gwe yazaala mu musiguze ng’agamba nti gano maka ge era akomyewo kufumba.
 
Margaret Mutalindwa akomyewo oluvannyuma lw’okuwulira nti bba Tom Hadali yawasizza omukazi omulala. Hadali yakalambidde nti tajja kumukkiriza kudda era nakweka omugole okulemesa mukyala mukulu okweddiza amaka.
 
Bino bibadde Busaale mu ggombolola y’e Kayunga mu disitulikiti y’e Kayunga. 
 
Abafumbo bombi beerumirizza okusuula obuvunaanyizibwa bw’amaka ate omulala obwenzi.
 
Mu lukiiko lw’okutabaganya abafumbo bano alwakubiriziddwa akola ku nsonsa z’okukuuma ebintu by’abafu n’okubikuuma Collins Kafeero yabaluhhamizza nti ensonga zaabwe baziggye mu lujjudde bagende mu bakulu b’ekannisa ya y’Abadiventi bateeseganye.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nagiriinya1nu 220x290

Eyaliko yaaya wa Nagirinya bamukutte...

ABEEBYOKWERINDA bongedde amaanyi mu kunoonyereza ku batemu abaawamba oluvannyuma ne batta omuwala Maria Nagirinya....

Shecraneswebnew 220x290

She Cranes yeetegekera za Afrika...

Ttiimu y'eggwanga eya She Cranes etandise okwetegekera empaka za Afrika ezitandika omwezi ogujja e South Afrika...

Do 220x290

Poliisi erondoola aba boda 2 abaamanya...

ABAVUNAANIBWA okuwamba n’okutta Maria Nagirinya ne Ronald Kitayimbwa poliisi ebatutte ew’omusawo okubeekebejja...

Cobapwebweb 220x290

Kiraabu COBAP ewumizza ey'e Kenya...

Kiraabu ya COBAP eraze ginnaayo okuva e Kenya nti ekyali ya bigere mu bikonde, bw'ewumizza abazannyi baayo n'ebaleka...

Nara 220x290

‘Nalaga Abamerika bannaffe be batta...

Grace Bukenya amanyiddwa nga BK akuba bulatti olwa Amerika okusitukira mu Kayihura.