TOP

Abatembeeyi babakkirizza okukolera mu Kampala

By Hannington Nkalubo

Added 19th March 2019

Abatembeeyi minisita baayogerako be batambula nga balejjesa ebintu so ssi abayiwa ebyamaguzi ku mbalaza ne ku mabbali g’enguudo ne batundirako.

Webbetikyamyanewtdy 703x422

Beti Kamya

MINISITA wa Kampala Beti Namisango Kamya alagidde buli mutembeeyi eyaggalirwa mu kkomera ku misango gya KCCA gimuggyibweeko ate bakkirizibwe okusasula omusolo bakolere kyeere mu kibuga.

Kamya alagidde akola nga dayirekita wa Kampala Andrew Kitaka ayimirize abaserikale munaana abagambibwa okwenyigira mu kutulugunya abatembeeyi era baggyibweeko yinifoomu n’ebintu bya KCCA byonna.

Bino yabitadde mu bbaluwa gye yawandiikidde Andrew Kitaka n’awaako Loodi Meeya Erias Lukwago kkopi n’omubaka wa Pulezidenti mu Kampala wamu ne bameeya ba munisipaali ettaano ezikola Kampala.

Abatembeeyi minisita baayogerako be batambula nga balejjesa ebintu so ssi abayiwa ebyamaguzi ku mbalaza ne ku mabbali g’enguudo ne batundirako.

Eggulo Lukwago yatuuzizza olukiiko lw’abasuubuzi n’abasomera ebbaluwa ya minisita Kamya kyokka n’abategeeza nti wadde yalagidde naye obuyinza bwonna obubategekera n’okubayamba okukolera mu Kampala mu mateeka buli mu lukiiko lwe era ayagala bamuwe ebirowoozo byabwe.

Yabagambye nti ekirungi ebbaluwa ya minisita ekwataganye n’okusalawo kw’olukiiko lwe olwasemba edda nti abatembeeyi bakkirizibwe okukolera mu Kampala naye nga basasudde omusolo gwa layisinsi ng’abasuubuzi abalala.

Olukiiko luno lwabaddemu ababaka ba Palamenti basatu Ibrahim Kasozi (Makindye East) Allan Ssewanyana (Makindye West), Moses Kasibante (Lubaga North) ne bameeya ba Kampala munisipaali.

Ababaka ba palamenti beebazizza Lukwago okuyita abasuubuzi n’abakkiriza okusasula ssente za layisinsi ne bategeeza  nti bateekwa okukolawo enteekateeka enneeyamba abatembeeyi bakolere wamu mu Kampala  nga tewali muntu yenna abakuba ku mukono.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabakafitri1 220x290

Kabaka ayagalizza Abasiraamu Idd...

KABAKA Ronald Muwenda II alagidde Bannayuganda okukuuma emirembe n’okusonyiwagana mu kiseera kino ng’Abasiraamu...

Mknded4 220x290

Famire eziyiridde mu nnyumba nga...

Abasiraamu mu kibuga ky’e Mukono baaguddemu encukwe ku Iddi munnaabwe eyabadde akedde ku maliiri okufumba emmere...

Mknmm3 220x290

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa...

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa Mukono ng’alina Corona virus-atwaliddwa mu kalantiini n’abalala babiri be...

Ssaavasennyonga 220x290

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere...

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere ya bukadde 300 okudduukirira abali ku muggalo

Lockdown309 220x290

Eyali awola ssente azzeeyo mu nnimiro...

ENSWA bw'ekyusa amaaso naawe ng'envubo okyusa ne Charles Tamale envubo agikyusirizza mu nkumbi okubaako ettofaali...