TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasawo beemulugunyizza ku kulwawo okumaliriza okuzimba Mulago omupya

Abasawo beemulugunyizza ku kulwawo okumaliriza okuzimba Mulago omupya

By Muwanga Kakooza

Added 19th March 2019

ABASAWO abeegattira mu kibiina kya ‘‘Uganda Medical Association (UMA)’’, beemulugunyizza ku kya gavumenti okulwawo okudaabirizi n’okumaliriza okuzimba eddwaaliro ly’e Mulago eppya erigenda okujjanjabwa endwadde ezibadde tezisobola kujjanjabirwa wano nga Bannayuganda abazirwala batwalibwa bweru.

Img20171208wa0060335186 703x422

Omukungu w’ekitongole ekikola ku kunoonyereza ku by’obulamu mu ttendekero lya Makerere University School of Public Health Dr. Olive Kobusingye n’agamba nti akasoobo kano kakyalemesezza  eby’okuleeta mu ddwaliro lino abakugu  abakugu 42 okukola ku ndwadde ezitalina basawo abatendekeddwa mu ngeri ey’ekikugu okukola ku ndwadde ezitalina basawo bamala mu Uganda .

Minisita w’eggwanga ow’ebyobulamu Sarah Opendi  yagambye nti eddwaliro linaatera okumalirizibwa n’agamba nti kyetaagisa obuwumbi 36 okumalirizibwa.

Yagambye nti obuwumbi 1400 gavumenti bw’eyagala okussa mu kuzimba eddwaliro eppya e Lubowa busaanye kussibwa mu kumaliriza eddwaliro ly’e Mulago.

Abakugu abatanassibwa mu ddwaliro lino baafuna okutendekebwa okw’enjawulo  mu Buyindi mu ndwadde ezitali zimu , ng’okukyusa ebibumba,okulongoosa emigongo,obwongo n’ebirala.

Omu ku baatendekeddwa mu ngeri ey’enjawulo  Dr Gideon Rukundo, yagambye nti tebandifuddeyo singa ensimbi ezo ziwereddwaayo okukola eddwaliro ly’e Lubowa ng’ery’e Mulago limaze okuggwa.

Pulezidenti w’ekibiina Dr. Ekwaro Obuku yagambye nti mu kifo kya gavumenti okuwaayo ssente z’okuzimba eddwaliro eppya e Lubowa esaanye okumaliriza Mulago omupya kuba naye asobola okukola ku ndwadde ezitanasobola kujjanjabirwa mu Uganda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bannamateeka ba Bannansi ba Rwanda...

Bannamateeka ba Bannansi ba Rwanda abaakwatibwa balaajanye

Lab2 220x290

Erias Lukwago alabudde abavubuka...

Erias Lukwago alabudde abavubuka abatava ku WhatsAapp ne Facebook

Hop2 220x290

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa...

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa

Jip1 220x290

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde...

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde obutwa

Kop2 220x290

Awonye okwokebwa abayizi be

Awonye okwokebwa abayizi be