TOP
  • Home
  • Amawulire
  • PAAPA Francis alonze Rev. Joseph Oliach Eciru okubeera Omusumba w’e Soroti

PAAPA Francis alonze Rev. Joseph Oliach Eciru okubeera Omusumba w’e Soroti

By Benjamin Ssebaggala

Added 19th March 2019

PAAPA Francis alonze Rev. Joseph Oliach Eciru okubeera Omusumba w’e Soroti

Kab2 703x422

Rev. Joseph Oliach Eciru alondeddwa

PAAPA Francis alonze Rev. Joseph Oliach Eciru okubeera Omusumba w’e Soroti omuggya. Polof. Ono abadde aweerereza ku St. Mary’s National Major Seminary e Ggaba, amawulire g’okulondebwakwe gaalangiriddwa olwaleero.

Omusumba omulonde yazaalibwa August 11, 1970. Emisomo yagitandikira mu Gweri Primary School gye yava okwegatta ku St. Peter’s Minor Seminary, Soroti gye yatuulira S.4 oluvannyuma ne yeegatta ku St. Pius X Seminary, Tororo.

Yagenda ku St. Thomas Aquinas Major Seminary Katigondo e Masaka oluvannyuma n’ayingira St. Paul’s National Major Seminary Kinyamasika e Fort Portal. Yafuna obwa Faaza nga August 9, 2003 mu Ssaza ly’e Soroti.

Asomesezza ku St. Peter’s Seminary era nga ye mumyuka w’omukulu w’ekifo ku kigo kya St. Patrick e Soroti wakati wa 2003 – 2004. Yaddayo n’aweereza e Kinyamasika 2004-2006 nga bw’asoma okutuuka ku ddaala lya Polof. E Ggaba gy’abadde okuva 2012 okutuusa webamulondedde.

Yasomera e Roma mu Pontifical Biblical Institute 2006-2209 n’afuna obwa dokita mu by’eddiini okuva mu pontifical Urban University e Roma 2009- 2012. Okuva 2014 Ssabasumba Emmanuel Obbo ow’e Tororo abadde alabirira essaza ly’e Soroti era akyakola omulimu ogwo okutuusa nga batuuzizza omusumba Omulonde Eciru.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Anita 220x290

Bebe Cool aleese amaanyi: Atuusizza...

OMUYIMBI Bebe Cool aleese amaanyi!, Nga yaakamala okutuusa kapyata ekika kya Land Cruiser V.* ZX Model 2019 gy’agamba...

Annotation20190719080947 220x290

Bukedde TV Livestream: Ekyenkya...

Bukedde TV Livestream: Ekyenkya

Massagebeingdonewebuse 220x290

By'olina okutunuulira nga tonnakola...

Nakola masaagi ne ntemwako okugulu era ntambulira mu kagaali - Dr. Karuhanga

Omukubayizingalikobyanyonyolawebuse 220x290

Abawala abazaddeko mubazze mu masomero...

Abawala abazaddeko okudda mu masomero kyakuyigiriza abalala obutakola nsobi n'okubudaabuda abafunye obuzibu bwe...

Teekawo1 220x290

Akakiiko ka bannamateeka kasazizzaamu...

OLUKIIKO olufuzi olwa bannamateeka ba Uganda Law Society olukwasisa empisa lusazizzaamu ekibonerezo ky'emyaka ebiri...