TOP
  • Home
  • Amawulire
  • UNEB erangiridde ennaku z'okwewandiisa okukola ebigezo by'omwaka guno

UNEB erangiridde ennaku z'okwewandiisa okukola ebigezo by'omwaka guno

By Muwanga Kakooza

Added 19th March 2019

UNEB erangiridde ennaku z'okwewandiisa okukola ebigezo by'omwaka guno

Lab2 703x422

Ssabawandiisi wa UNEB Dan Odong

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga  (UNEB) kirangiridde nti okuwandiisa abayizi abagenda okutuula ebibuuzo bya P.7 , S.4 ne S.6 kutandika mwezi gujja.

Ssawabawandiisi w’ekibiina Dan Odong yagambye nti okwewandiisa okubikola kutandika April 1 kumalirizibwe May 31,2019.Okuwandiisa abayizi kujja kukolerwa ku kompyuta.

Ebisale ebissiddwawo okusasulwa abagenda okukola ebigezo biri bwe biti; PLE bagenda kusasula 34,000/-  ate abaneewandiisa ekikerezi basasule 68,000/-. Bano  bajja kuba nga tebasobodde kwewandiisa wakati wa April 2 ne May 31,2019. Era bano bajja kuweebwa omukisa okwewandiisa June 1 okukoma nga June 30,2019.

Abanaakola S.4 bakusasula 164,000/-,ate abaneewandiisa ku lwabwe bajja kwongerako 15,000/-. S.6 bagenda kusasula 186,000/- ate abeewandisizza ku lwabwe bongerako 18,000/-.Okukyusaamu ku by’owandiise 50,000/-, obutamatira nga makisi z’ofunye n’oddamu okusaba okugololwa ebigezo 100,000/- buli lupapula,okukyusa ekifo w’ogenda okukolera ebigezo 250,000/

Anaawandiisa omuyizi ekikerezi wakusasula ensimbi eziwera ebitundu 50 ku ezo entongole ezisabiddwa. Aba UPE, USE ne UPLOT  tebalina kwewandiisa kikerezi kuba ensimbi zaabwe zigenda kuwebwayo gavumenti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190718192802 220x290

Okwogera kwa Pulezidenti Museveni...

Okwogera kwa Pulezidenti Musevebni eri eggwanga. Tuli mu maka g'Obwapulezidenti e Nakasero

Massagebeingdonewebuse 220x290

By'olina okutunuulira nga tonnakola...

Nakola masaagi ne ntemwako okugulu era ntambulira mu kagaali - Dr. Karuhanga

Omukubayizingalikobyanyonyolawebuse 220x290

Abawala abazaddeko mubazze mu masomero...

Abawala abazaddeko okudda mu masomero kyakuyigiriza abalala obutakola nsobi n'okubudaabuda abafunye obuzibu bwe...

Teekawo1 220x290

Akakiiko ka bannamateeka kasazizzaamu...

OLUKIIKO olufuzi olwa bannamateeka ba Uganda Law Society olukwasisa empisa lusazizzaamu ekibonerezo ky'emyaka ebiri...

Club 220x290

Vipers bagitutte mu kkooti lwa...

KIRAABU ya Vipers bagitutte mu kkooti lwa kukozesa akabonero kaayo (logo) nga tebasasudde yakakola. Era eyabawawaabidde...