TOP

Nkumba by'esiba bikutuka e Misiri

By Musasi wa Bukedde

Added 19th March 2019

Nkumba by'esiba bikutuka e Misiri

Lip 703x422

OLUVANNYUMA lw’abawala ba Nkumba University okugenda mu mpaka za 2019 Africa Club Women Volleyball Champoinship e Cairo mu Misiri nga tebawera olw’ebbula ly’ensimbi, b’afiiriddwa obubonero 3-0 bwe babugabidde ttiimu ya Asec Mimosa.

Nkumba yali yeetaaga obukadde 75 okutwala abazannyi 14 n’abakungu 5, wabula ssente zagaana okuwera, kwe kutikka abazannyi mu biwagu, 8 baasitula ku lwokuna lwa wiiki ewedde nga basuubira abalala okubeegattako ng’olwomukaaga terunatuuka.

Ku lwomukaaga lwe baali bazannya omuzannyo oguggulawo ne Asec Mimosa wabula obudde bw’okutandika bw’atuuka nga Nkumba erina abazannyi 8 kyokka ng’etteeka liragira abazannyi 9 abasookerwako.

Asec Mimosa y’agukidde mu magoba bwe baagiwadde obubonero 3-0 omuzannyo ne gutazannyibwa, wabula abazannyi abalala b’atuuka kikeerezi ku lwomukaaga era ku Ssande beesasulizza ku ttiimu ya Elsham abategesi ku bugoba 3-2 (21-25,25-11 ne 15-8 Elsham 25-17 ne 25-22).

Nkumba bassaalongo ba Uganda mu Volley ball sizoni ewedde ate baagudde ku kyokya ttiimu ya Prisons okuva e Kenya bwe yabakubye ensiike eyokusatu ku bugoba 3-1 (24.26 27.25 25.16 25.22) eky’ayongedde okukendeeza emikisa gya Nkumba okwesogga “quarter”.

Empaka zino zeetabiddwaamu ensi 15 nga Nkumba ezaako GSP eya Algeria ensiike gy’erina okuwangula okutangaaza emikisa gyayo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA