TOP

Khingt Kulabako wa UPC afudde

By Muwanga Kakooza

Added 19th March 2019

Khingt Kulabako wa UPC afudde

MUNNA UPC omukazi  eyayatikirira ennyo ku mulembe gwa Dr. Milton Obote II era ng’abadde mpagi luwaga mu kibiina kino  Jenniffer  Night Kulabako,71, afiridde mu ddwaliro e Mengo gy’amaze ebbanga ng’atawanyizibwa obulwadde bw’omutima.

Kulabako yali wa ggombolola y’e Katabi okumpi n’e Ntebe era nga ye ssentebe w’ekibiina kino mu kitundu ekyo era yayatikirira nnyo ku mulembe gwa Obote II mu myaka gy’ekinaana.

Ssentebe wa UPC Lawrence Okai yagambye nti omugenzi amaze ebbanga ng’atawanyizibwa obulwadde okutuusa lwe yanafuye n’assibwa ku kyuma ekimuyamba okussa ku Mmande kyokka ku Lwokubiri n’afa.

Olw’obuwagizi bw’abadde nabwo mu kibiina kino Kulabako abadde yakazibwako linnya lya ‘maama UPC’  era w’afiridde abadde akola ng’omukunzi w’abantu mu kibiina kyokka nga takyawulizika nnyo. Obote bwe yavaako, Kulabako yassibwako mu kkomera kyokka oluvannyuma n’ateebwa.

Mu kulonda kwa LC1 okuwedde yesimbawo kyokka n’atayitamu. Aleese abaana n’abazukkulu.  Omu ku mmemba b’ekibiina era eyakolako ne Kubalabako era nga yaliko omubaka wa  Mityana South East,Paul Sseruyange yagambye Bukedde nti omugenzi abadde abeera Masanafu   era wakuziikibwa ku kyalo Kikube - Bulemeezi ng’okyamira ku kikubo ekigenda ku yunivasite e Ndejje.

Kulabako yazaalibwa Katabi mu mwaka 1948 n’asomera mu Namate Primary School , Nkumba Primary okuva mu P.2 okutuuka ku P.6. Yava wano okwegatta ku Nkumba Junior School n’akoma mu Junior 3 era teyeyongerayo. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA