TOP

Mao atabuse ne Muwanga Kivumbi lwa kumugaana

By Muwanga Kakooza

Added 19th March 2019

Mao atabuse ne Muwanga Kivumbi lwa kumugaana

Fut2 703x422

MAO ng'ayogera mu lukung'aana lw'abannamawulire

PULEZIDENTI wa DP Nobert Mao atabukidde omubaka w’e Butambala mu palamenti Muwanga Kivumbi olw’okumukuba ku nsolobolotto ku by’okwesimba ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga n’agamba nti tajja kumuggya ku mulamwa kuba yatandika okubwegwanyiza  ng’akyali mu ssomero!

‘’Nalangirira nti nja kwesimba ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga nga nkyali mu siniya yakusatu e Namiryango. Nina ekirooto nti olunaku lumu nja kuba pulezidenti. Nteekwa okufuuka pulezidenti  bwe kinaaba tekisobose wakiri  nja kufa nga ngezaako’’ Mao bw’ategeezezza bannamawulire mu Kampala.

Kino kiressewo olutalo lw’ebigambo wakati we n’abamu ku bammemba ba DP naddala omubaka w’e Butambala, Muwanga Kivumbi, atakaaanya naye ng’ayagala alekere omubaka Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine ow’ekisinde kya ‘People Power’.

            ‘’Okulangirira nti ngenda kwesimba ku bwa Pulezidenti ssi kipya. Nakirangirira dda nga nkyali mu mutiini. Era njagala kwesimbawo mu 2021’’ Mao bwe yakatirizza n’agamba nti abamu ku bamungoola kati be ba DP abaali mu kabinja ka SSuubi mu kulonda kwa 2011

Kyokka yagambye nti wadde ayagala obwa Pulezidenti naye mwetegefu okutuula n’abanaaba  batereddwaawo ebibiina ebirala ebivuganya beerondeko omu asinza amaanyi yesimbewo. Kyokka yakkirizza nti DP ne Bobi Wine be bamu kuba famile y’omubaka ono Robert Kyagulanyi ya DP nnyo era nkyenkana DP yeyayola ‘Munnagheto’ ono. N’agamba nti atabula DP ne People Power ye mulabe wa Uganda nnamba emu.

Yagambye nti takiriziganya na bamugaana kulangirira bya kwesimbawo n’ategeeza nti abakikola balinga abagezaako okumugobaganya ku ‘meeza’ y’okuteesa ani asaanidde okukwata bendera y’okuba Pulezidenti wa Uganda

‘’Endowooza ya Muwanga Kivumbi ya kyalo ky’ewala ennyo eky’e Butambala. Bwongana okulangirira okwesimbawo oba ng’angoba ku meeza y’okutuuka ku kukaanya ku ani aba akwata bendera’’ bwe yagambye. 

Nayongera okulumba abalina endowooza eno nti : ‘’Obusiru ssi musango kuba singa gwali musango abantu bangi bandibadde mu makkomera.

Obusiru era tebabuweera musolo. Naye eby’okunvuma  n’okunsiiga enziro tebyetaagisa. Ddembe lyange okwesimbawo ku lwange oba ku lw’ekibiina.Ne Bobi Wine naye ddembe lye’’ Mao bwe yagambye.

N’agamba nti teri ajja kumutiisa . ‘’Banvuma lwa kuba ndi wa maanyi. Lwaki tebavuma Mabiriizi oba Kyalya ng’ate nabo bagenda kwesimbawo. Teri asobola kuyomba na mbwa nfu (ennamu gye batya) n’olwekyo bannumba lwa kuba nina amaanyi. Era teri ajja kuntiisatiisa. Era Muwanga Kivumbi yavudde ku mulamwa olw’okugezaako okuleeta olutalo lw’okunwanyisa olw’endowooza zange’’ Mao bwe  yagambye.

Yagambye nti eby’okumusiiga enziro bwe yesimbawo pulezidenti Museveni y’aba amuleese okutabula DP ssi bituufu. Wano we yavudde ate okulangira Pulezidenti Museveni nti atya nnyo akalulu y’ensonga lwaki tayagala kuvuganyizibwa mu kamyufu ka kibiina.

Wabula yamulabudde nti DP egenda kumunyweesa amazzi mu 2021 kuba emuletedde enkumbi bbiri okuli ekabala n’ekoola era ajja kugiwuliramu omusera.

Mu lukung’ana mwalagiddwaamu eyawangudde okulonda kw’abayizi e Makerere Julius Kateregga eyayogeddwaako ng’owa DP era ow’ekisinde kya ‘People Power’.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA