TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omujaasi bamusibye emyaka 40 lwa kutta mukazi we

Omujaasi bamusibye emyaka 40 lwa kutta mukazi we

By Musasi wa Bukedde

Added 20th March 2019

Gutti yagambye nti Okumu oluvannyuma lw’okukkiriza omusango baamusaliddeko ku kibonerezo ne bamusiba emyaka 40 wabula wa ddembe okujulira ssinga abeera tamatidde na nsala ya kkooti eno.

Makindye2 703x422

Okumu mu kaguli ka kkoooti y'amagye e Makindye nga yasindikiddwa mu kkomera amaleyo emyaka 40.

BYA MARGRET ZALWANGO

KKOOTI y’amagye esindise omujaasi mu kkomera amaleyo emyaka 40 lwa kutta mukazi we.

L/Cpl. Bernard Okumu 44, omujaasi wa UPDF mu nkambi  y’amagye e Luwunga  Kakiri yasindikiddwa e Luzira oluvannyuma lw'okukkiriza nti ddala yatta mukazi we, Annet Kebirungi.

Ssentebe wa kkooti y’amagye, Lt. Gen. Andrew Gutti yasomedde Okumu ekibonerezo kye n’agamba nti asibiddwa nga basinziira ku kukkiriza kwe. Yamutegeezezza nti omusango gwe yazza munene nnyo ng’omuntu aguzzizza bwe gumusinga naye asalirwa gwa kufa wabula kkooti yamusaasidde kubanga alabika yeenenyezza kye yakola.

Gutti yagambye nti Okumu oluvannyuma lw’okukkiriza omusango baamusaliddeko ku kibonerezo ne bamusiba emyaka 40 wabula wa ddembe okujulira ssinga abeera tamatidde na nsala ya kkooti eno.

Okumu yakkiriza nti nga July 6, 2018 e Luwunga mu Kakiri Barraks, Okumu yatta Annet Kebirungi  oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya. Kigambibwa nti yamutemaatema ebiso omulambo n’agusuula mu nsiko eyali eriranyeewo.

Nga wayise ennaku ntono, Okumu yagenda ku poliisi n’agitegeeza nga mukazi bwe yali awambiddwa nga wayise wiiki nnamba nga tamulaba.

Oluvannyuma omulambo gwa Kebirungi gwazuulibwa mu nsiko nga gutandise okuvunda era Okumu bwe yakwatibwa n’akkiriza nti ddala yamutta kubanga yali amusuubiriza okubeera n’omusajja omulala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det2 220x290

Famire ekyasattira olwa ssemaka...

Famire ekyasattira olwa ssemaka okubula

Lip2 220x290

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala...

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala ku kyeyo

Sab 220x290

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa...

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

Fut2 220x290

Akulira kkampuni etwala abantu...

Akulira kkampuni etwala abantu ku kyeyo akwatiddwa lwa kufera

Set1 220x290

Omuyambi wa Museveni bamuloopye...

Omuyambi wa Museveni bamuloopye