TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ekibiina ky'amawanga amagatte kifulumizza alipoota ku mazzi n'obutonde

Ekibiina ky'amawanga amagatte kifulumizza alipoota ku mazzi n'obutonde

By Benjamin Ssebaggala

Added 20th March 2019

Ekibiina ky'amawanga amagatte kifulumizza alipoota ku mazzi n'obutonde

EKIBIINA ky’amawanga amagatte kifulumizza lipooti ku mazzi n’obutonde ne kiraga nti omwaka 2015 wegwatuukira ng’abantu bbiriyoni bbiri n’obukadde 100 tebalina mazzi mayonjo okwetoloola ensi yonna ng’amakkati ku muwendo ogwo bava mu Africa.

Lipooti y’emu eraga nti abantu bbiriyoni nnya n’obukadde 500 bagabana kaabuyonjo zebakozesa mu maka gaabwe ate nga tezituukana na muntindo ogulambikibwa. Geneva Baasinzidde Switzerland ku Lwokubiri.

Lipooti eno y’emu ku ntegeka z’okukuza olunaku lw’ensi yanna olw’amazzi n’obutonde. Omuntu libeera ddembe lye ery’obwebange okufuna amazzi amayonjo ne kaabuyonjo okusinziira ku kiteeso ky’ekibiina ky’amawanga amagatte ekya 2015. Lipooti bagitongolezza mu kukung’aana lw’eddembe ly’obuntu olw’omulundi ogwa 40  lwe bayita Human (Rights Council)

Olunaku lw’amazzi mu nsi yonna lukuzibwa Lwakutaano lwa wiiki eno March 22, 2019. Ekiteeso ky’ekibiina ky’amawanga amagatte kiteekawo embeera ewa gavumenti obuvunaanyizibwa okulaba nga kigikakatako okusobozesa abantu okufuna amazzi amayonjo ne kaabuyonjo awatali kusosola wabula omukisa erina kusooka kuguwa abo abasinga okubeera obubi.

Akulira ekitongole kya UNESCO Audrey Azoulay yagambye nti amazzi amayonjo gooleka omugaso ogumulabibwamu eri abalala kyokka ekyennyamiza kwekubeera nti abamu bangi bakyammiddwa omukisa guno.

Lipooti y’ekibiina ky’amawanga amagatte eraga nti singa abo ababadde balekddwa ebbali baweebwa omukisa okubeera nga beenyigira mu kusalawo ku nsonga ez’enkizo ezibakwatako, kisobola okuyambaku mu kumalawo ekizibu kino.

Okusinziira ku Gilbert F. Houngbo akulira UN-Water era pulezidenti wa International Fund for Agricultural Development, kyetaagisa okukyusa enkola eziri mu biwandiiko babiteeke mu nkola okusobola okutuukiriza bino.

Emiwendo gibikkirira okulaga ekituufu ku mbeera y’amazzi n’obutonde kyokka kikakasiddwa nti bangi ku bantu abanywa amazzi agatatuukana na mutindo n’abo abatalina kabuyonjo zitegeerekeka bava mu Africa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lap2 220x290

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka...

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka

Siralexferguson1132188 220x290

Aba ManU bampisaamu amaaso - Sir...

EYALI omutendesi wa ManU, Sir Alex Ferguson ayogedde ku mbeera eyali ttiimu ye gy'erimu n'agamba nti ekwasa ennaku....

Lop2 220x290

Bakasukidde ab’e Ntinda ebintu...

Bakasukidde ab’e Ntinda ebintu

Jogo 220x290

Engeri Valencia gye yakomezza ejjoogo...

EJJOOGO Barcelona ly'ebadde eyolesa mu mpaka za Copa del Rey, Valencia yalimazeewo bwe yagikubye ggoolo 2-1 ku...

Tip3 220x290

Bajjukidde lwe baalumba Olubiri...

Bajjukidde lwe baalumba Olubiri ne basabira Obwakabaka