TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abatembeeyi basagambiza nga akimemezza okwenjala: Babawadde ebbeetu okutundira mu kibuga

Abatembeeyi basagambiza nga akimemezza okwenjala: Babawadde ebbeetu okutundira mu kibuga

By Hannington Nkalubo

Added 20th March 2019

MINISITA wa Kampala Beti Namisango Kamya alagidde buli mutembeeyi eyaggalirwa mu kkomera ku misango gya KCCA gimuggyibweeko ate bakkirizibwe okusasula omusolo bakolere kyeere mu kibuga.Abatembeeyi minisita baayogerako be batambula nga balejjesa ebintu so ssi abayiwa ebyamaguzi ku mbalaza ne ku mabbali g’enguudo ne batundirako.

Sanyu 703x422

Kamya alagidde akola nga dayirekita wa Kampala Andrew Kitaka ayimirize abaserikale munaana abagambibwa okwenyigira mu kutulugunya abatembeeyi era baggyibweeko yinifoomu n’ebintu bya KCCA byonna.

Bino yabitadde mu bbaluwa gye yawandiikidde Andrew Kitaka n’awaako Loodi Meeya Erias Lukwago kkopi n’omubaka wa Pulezidenti mu Kampala wamu ne bameeya ba munisipaali ettaano ezikola Kampala.

Abatembeeyi minisita baayogerako be batambula nga balejjesa ebintu so ssi abayiwa ebyamaguzi ku mbalaza ne ku mabbali g’enguudo ne batundirako.

Eggulo Lukwago yatuuzizza olukiiko lw’abasuubuzi n’abasomera ebbaluwa ya minisita Kamya kyokka n’abategeeza nti wadde yalagidde naye obuyinza bwonna obubategekera n’okubayamba okukolera mu Kampala mu mateeka buli mu lukiiko lwe era ayagala bamuwe ebirowoozo byabwe.

Yabagambye nti ekirungi ebbaluwa ya minisita ekwataganye n’okusalawo kw’olukiiko lwe olwasemba edda nti abatembeeyi bakkirizibwe okukolera mu Kampala naye nga basasudde omusolo gwa layisinsi ng’abasuubuzi abalala.

Olukiiko luno lwabaddemu ababaka ba Palamenti basatu Ibrahim Kasozi (Makindye East) Allan Ssewanyana (Makindye West), Moses Kasibante (Lubaga North) ne bameeya ba Kampala munisipaali.

Ababaka ba palamenti beebazizza Lukwago okuyita abasuubuzi n’abakkiriza okusasula ssente za layisinsi ne bategeeza nti bateekwa okukolawo enteekateeka enneeyamba abatembeeyi bakolere wamu mu Kampala nga tewali muntu yenna abakuba ku mukono.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA