TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bawambye abadde y'akakuba embaga ne bamutta omulambo ne bagusuula mu kibira

Bawambye abadde y'akakuba embaga ne bamutta omulambo ne bagusuula mu kibira

By Paddy Bukenya

Added 20th March 2019

Bawambye abadde y'akakuba embaga ne bamutta omulambo ne bagusuula mu kibira

Kab2 703x422

BAWAMBYE abadde yakakuba embaga ne bamutta omulambo ne bagusuula mu kibira.

Ismah Musisi 23 omutuuze we Kavume mu Mpigi town council yeyawambibwa abatemu ku nkomerero ya wiiki ewedde ne bamubuzaawo oluvanyuma ne basuula omulambogwe mu kibira kye Kavule we basanze omulambo gwe nga bagutaddemu omuguwa mu bulago okubuzabuza obujulizi.

Musisi yabula ku lwokutaano lwa wiiki ewedde emisana kyokka nga alese essimu ye ne pikipiki ye ewaka kyoka abatuuze ne bagezaako okusamba ensiko okumunoonya mu birombe bye ebya bulooka nga taliiyo.

Mukazi we gweyakakuba embaga kuntandikwa yomwaka guno nga 16 Jan, Jalia Nassimbwa yagenda ku poliisi eNakirebe n'aggulawo fayiro yokubula kwa bba (Musisi) ku mande ya wiiki eno era ne bamuzuula akawungeezi ku lw'okubiri nga bamusibye omuguwa mu bulago ne bamusuula mu kibira.

Poliisi ye Mpigi nga ekulembeddwamu akulira ba mbega mu Mpigi Andrew Ainembabazi bagenze ewasangiddwa omulambo nebagwekebejja oluvanyuma ne gutwalibwa mu bakugu eMulago okakasa oba nga omugenzi yattugiddwa.


More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...