TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Olukiiko olutegeka amazaalibwa ga Kabaka lulambudde Ndejje SS

Olukiiko olutegeka amazaalibwa ga Kabaka lulambudde Ndejje SS

By Dickson Kulumba

Added 20th March 2019

Olukiiko olutegeka amazaalibwa ga Kabaka lulambudde Ndejje SS

Wat2 703x422

Abakungu ba Kabaka nga balambula essomero lya Ndejje SS

OLUKIIKO olutegesi lw’amazaalibwa ga Kabaka age 64 lulambudde ebifo eby’enjawulo ku Ndejje SS mu ssaza ly’e Bulemeezi awagenda okutegekebwa omukolo guno nga April 13, 2019 era ne bamatira n’engeri essomero gye lyeteseteesemu.

Hajji Amisi Kakomo nga ye mumyuka wa Ssentebe w’olukiiko luno nga yakulembeddemu banne okutuuka mu kifo kino,atenderezza obugazi bw’ekifo nga kyakusobozesa okutegeka omukolo ogw’ekitiibwa.

‘Tulambudde ekisaawe awagenda okubeera omukolo omukulu, ekifo abagenyi ba Beene webanasimba emmotoka zaabwe,ebifo Kabaka wanagabulira Obuganda, ekifo awanabeera amakula ga Kabaka n’ebirala byonna ebikwata ku mukolo tubirambudde,” Hajj Kakomo bweyanyonyodde ku Lwokubiri March 19,2019

Hajj Kakomo, mu kiseera ky’ekimu nga ye minisita omubeezi ow’eby’obulimi era avunanyizibwa ku busuubuzi n’obwegassi e Mmengo yakubiriza abantu ba Buganda bonna okweteekateeka okujja mu bungi ku mukolo guno kubanga gy’egimu ku mikulu mu Bwakabaka.

Ye omumyuka w’omukulu w’essomero lino David Balaba Ssenkungu yebazizza Kabaka olw’okuwa Ndejje SS omukisa okutegeka omukolo gw’amazaalibwa ge era neyeyama nti entegeka bakuzikwasa maanyi aleme kwejjusa lwaki yasiimye okuleeta omukolo gwe mu kifo kino.

SSENTEBE W’OLUKIIKO ALAMBULUDDE OMULAMWA GW’OMWAKA GUNO:

Ssentebe w’olukiiko luno,David Mpanga yategezezza nti omulamwa gw’omulundi guno ng’Obuganda bujjaguza amazaalibwa ga Kabaka gugamba nti “

OMWANA AGUNJUDDWA OBULUNGI NGA MULAMU BULUNGI NGA YESIGA KATONDA LY’ESSUUBI LYA BUGANDA.

Omulamwa gw’omulundi guno  twagala okuggyayo embeera y’omwana nga twesigamiza ddala ku mwana oyo gwetunaaba tujjaguza olunaku olwo Ssabasajja Kabaka. Omwana akuziddwa obulungi nga mulamu;- bamukebeza nnalubiri, bamujjanjaba, nga yesiga Katonda ly’essuubi lyetulina okutambuza ensi eno Buganda, Uganda ne Afrika okutwalira awamu.

Tulabira ku Kabaka yennyinyi nti wakati mu bizubu, okukuzibwa kwe obulungi, okugunjulibwa kwe obulungi n’okwesiga Katonda, bimuwangazizza era bitutwala mu maaso ng’obwakabaka.

Tulowooza nti abazadde bonna bwebanalabira ku mugole waffe oyo ow’olunaku bagunjule abaana baabwe nga babasomesa bulungi, babasomesa olulimi oluganda, babasomesa empisa ez’obuntu bulamu Nnabagereka zatuyigiriza buli mwaka. Nga babayigiriza okwerabirira n’okwekuuma obulungi mu by’obulamu omuli okulya obulungi, okwekuuma endwadde zonna ezisigibwa n’ezitasigibwa. Awo wewali essuubi lyaffe.

Omwami wa Kabaka atwala essaza ly’e Bulemeezi, Kkangaawo Freddie Ntege Ssekammere yategezeza nti ekiseera kino bali mu kunoonya macula ga Kabaka ate n’okukunga abantu kwetegeka okubeerawo ng’abajjulizi wakati mu kulaga essanyu.

Baminisita Joseph Kawuki, Henry Ssekabembe, David Ntege owa pulotoko babaddeko. Kkangaawo yabadde n’olukiiko lwe olw’essaza olutegesi. Abaserikale ba Kabaka nabo nga bakulembeddwamu Maj. Stanley Musaazi betabye mu kulambula kuno nga batuuse ne ku kizimbe kya ofiisi ekisuubirwa Kabaka okusimbako ejjinja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.