TOP

Omusawo bamukutte kufera bantu

By Moses Lemisa

Added 20th March 2019

OMUSAWO eyeekebejja omusaayi bamukutte lwa kufera bantu n’abaggyako ssente ng’abalimbye okubafunira emirimu mu America. Julius Bamugahare, omutuuze w’e Kyebando kisalosalo omusawo mu ddwaaliro lya Victorious e Wandegeya ng’abatuuze baamukazaako lya Dokita yakwatiddwa ofiisi y’omubaka wa pulezidenti e kawempe oluvannyuma lw’abantu abawerako okumuwaako obujulizi nga bwe yabaggyako ssente ng’abasuubizza emirimu mu America n’atabatwala.

Bamugaharegwebavunaana3 703x422

Bamugahare afera abantu okubatwala mu Amerika

OMUSAWO eyeekebejja omusaayi  bamukutte lwa kufera bantu n’abaggyako ssente ng’abalimbye okubafunira emirimu mu America.
 
Julius Bamugahare, omutuuze w’e Kyebando kisalosalo omusawo mu ddwaaliro lya Victorious e Wandegeya ng’abatuuze baamukazaako lya Dokita yakwatiddwa  ofiisi y’omubaka wa pulezidenti e kawempe oluvannyuma lw’abantu abawerako okumuwaako obujulizi nga bwe yabaggyako ssente ng’abasuubizza emirimu mu America n’atabatwala.
 
Okumukwata yasoose kwefuulira be yaggyako ssente abaabadde bagenze okumubanja n’abayitira abaserikale ng’agamba babbi  ab’emmundu era baakwatiddwa ne batekebwako empingu wakati mu lujjudde lw’abantu abaabadde baagala okubakuba, ku bano kwabaddeko; Bony Lukungu eyagambye nti singa abaserikale ba RCD tebaayanguye ku bataasa osanga abantu bandibakubye ne babatta nga babayita babbi kyokka nga baabadde bagenze kubanja.
 
Abaserikale nga bamaze okuzuula ekituufu baakutte Bamugahare ne babowa n’emmotoka y’ekika kya Primo nnamba UAJ 828R  be yafera gye balumirizza nti gye yakozesanga okubatwala e Mukono ku kkanisa ya Double Happiness esangibwa mu maaso ga poliisi gye baasasulira ssente ezimu  ng’abagambye omusumba abikolako muntu wa mazima tasobola kubabba.
 
Abamu ku baamulumirizza kuliko; Glades Nanoze 29 ow’e Mpererwe, Rachael Muyoka 30 ow’e Sseguku, Evelyn Nanvule 26 ow’e Kawempe Ttula n’abalala baategeezezza nti, nga bamaze okutegeera nti, Bamugahare ababbye baamuloopa ku poliisi y’e Kawempe kyokka n’akozesa owa poliisi mayinja asatu gwe yagamba nti muganda we n’ayimbulwa ng’akakasizza okusasula abamubanja n’atakikola. 
Nanoze yategeezezza nti, mu August  w’omwaka oguwedde waliwo eyamuyunga ku Bamugahare okumufunira omulimu mu America nga yamusaba ssente obukadde 400,000/- . Yagambye olw’okuba baali bamukakasizza omulimu gumulinze n’atunda poloti ye e Mityana n’amuwa ssente. 
 
Yayongeddeko nti baali baakugenda nga August 15, bwe zatuuka n’atandika okubabuzaabuzza nti, balindeko kuba okufuna Viza ya America si kyangu nga wano abamu baamukwata ne bamutwala ku poliisi n’akola endagaano n’akkiriza okubasasula nga kati abamu abamubanja abatiisatiisa nga bw’agenda okubatuusako obulabe singa bagenda mu maaso n’ensonga. 
 
Muyoka, Nanvule n’abalala baategeezezza nti buli omu yamusabanga ssente za njawulo okuva ku 200,000/ naye waliwo beyaggyako ezisoba mu bukadde era baamuggulako emisango ku poliisi y’e Kawempe ku fayiro nnamba SD REF: 67/18/12/2018, SD REF: 70/18/12/2018, SD REF:71/18/03/2019 n’emirala 
                                                         
 
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Anita 220x290

Bebe Cool aleese amaanyi: Atuusizza...

OMUYIMBI Bebe Cool aleese amaanyi!, Nga yaakamala okutuusa kapyata ekika kya Land Cruiser V.* ZX Model 2019 gy’agamba...

Annotation20190719080947 220x290

Bukedde TV Livestream: Ekyenkya...

Bukedde TV Livestream: Ekyenkya

Massagebeingdonewebuse 220x290

By'olina okutunuulira nga tonnakola...

Nakola masaagi ne ntemwako okugulu era ntambulira mu kagaali - Dr. Karuhanga

Omukubayizingalikobyanyonyolawebuse 220x290

Abawala abazaddeko mubazze mu masomero...

Abawala abazaddeko okudda mu masomero kyakuyigiriza abalala obutakola nsobi n'okubudaabuda abafunye obuzibu bwe...

Teekawo1 220x290

Akakiiko ka bannamateeka kasazizzaamu...

OLUKIIKO olufuzi olwa bannamateeka ba Uganda Law Society olukwasisa empisa lusazizzaamu ekibonerezo ky'emyaka ebiri...