TOP

Abanja bakoddomi be omutwalo

By Saul Wokulira

Added 20th March 2019

Omusajja asabye bakoddomi be omutwalo gwe yabawa ng'awasa mukyala we

Bajaasoomukoabanjaebintuekifsaulwokulira 703x422

Bajaaso omuko

Bya SAUL WOKULIRA.    March….18
 
OMUSAJJA akaze amaaso n’alumba bakoddomi be n’abasaba  bamuddize ente ze yabawa ng’omutwalo bwe yali awasa muwala waabwe ne nnyana zonna ze zizadde.
 
Yategeezezza nti bakoddomi be bagaggawalidde mu mmaali gye yabawa ate ye ne famire ye okuva lwe baamukamulamu ebintu ng’awasa, obwavu bwongera kubasenkenya. ate n’ebintu nyazaala we Esther Nyinomukoobwa bye yaleka mukazi we teyagabanako.
 
Geoffrey Bajaasi yalagidde mukoddomi we, Stephen Tunuunu amuddize ente ze ssatu n’ennyana zaakwo zeyagula omukazi Juliet Nyamwiza bwe yali amuwasa emyaka 12 egiyise.
 
Tunuunu yasooka kubitwala nga eby’olusaago era teyaddiza Bajaasi nte nga bwe yasaba. Wabula Bajaasi ensonga yazongerayo n’azitwala ew’omubaka wa pulezidenti, Margaret Mwanamoiza ono yazikwasizza Collins Kafeero avunaanyizibwa ku kulondoola ebintu by’abafu n’okutumbula eddembe ly’obuntu.
 
Kafeero yatuuzizza olukiiko ku kyalo Kikankada mu Galiraaya n’awa bano amagezi batuule bakkaanye.
 
Tunuunu agamba nti ebintu nga byeyongedde okutabuka yatwala Bajaasi mu kiraalo n’amuwa ente bbiri wabula yakalambira nti ayagala zonna ssatu n’ennyana zonna.
    
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190718192802 220x290

Okwogera kwa Pulezidenti Museveni...

Okwogera kwa Pulezidenti Musevebni eri eggwanga. Tuli mu maka g'Obwapulezidenti e Nakasero

Massagebeingdonewebuse 220x290

By'olina okutunuulira nga tonnakola...

Nakola masaagi ne ntemwako okugulu era ntambulira mu kagaali - Dr. Karuhanga

Omukubayizingalikobyanyonyolawebuse 220x290

Abawala abazaddeko mubazze mu masomero...

Abawala abazaddeko okudda mu masomero kyakuyigiriza abalala obutakola nsobi n'okubudaabuda abafunye obuzibu bwe...

Teekawo1 220x290

Akakiiko ka bannamateeka kasazizzaamu...

OLUKIIKO olufuzi olwa bannamateeka ba Uganda Law Society olukwasisa empisa lusazizzaamu ekibonerezo ky'emyaka ebiri...

Club 220x290

Vipers bagitutte mu kkooti lwa...

KIRAABU ya Vipers bagitutte mu kkooti lwa kukozesa akabonero kaayo (logo) nga tebasasudde yakakola. Era eyabawawaabidde...