TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bamukwatidde mu bubbi n'alonkoma owa Poliisi amuwa emmundu gy'abbisa

Bamukwatidde mu bubbi n'alonkoma owa Poliisi amuwa emmundu gy'abbisa

By Moses Lemisa

Added 21st March 2019

Bamukwatidde mu bubbi n'alonkoma owa Poliisi amuwa emmundu gy'abbisa

Kib1 703x422

Ow'amagye ng'akutte agambibwa okubbisa emmundu emuweebwa owa Poliisi

AMAGYE ne Diso we Kawempe bakutte  owa poliisi akolagana n’ababbi n’abapangisa emmundu okuzikozesa mu bubbi.

Gideon Mbirire  26  nnamba 63516  omusirikale wa poliisi ye Kabulengwa  Kyebando Nansana mu disitulikiti ye Wakiso  yakwatiddwa  amagye agakulembeddwamu 2LT Swarehe Begumisa n’abasirikale abakolera mu ofiisi ya Diso we Kawempe okwabaddeko  Hamidu Bwenkya , Isma Kasagga ne Abbey Mukwaya ku Lwokusatu ekiro

Mbirire okukwatibwa kyaddiridde  Isma Ssemwogerere omutuuze we Kyebando omumenyi w’amateeka ow’olulango okumulumirizza nga bwaludde ng’akolagana ng’amupangisa emmundu nagikozesa okubba ng’ebiseera ebimu babadde bagenda naye  Ssemwogerere alina abakazi babiri   Jenifer Nagudi  mukyala mukulu ng’amulinamu omwana  ne Olivia Nakayiki ali lubuto lukulu ng’abadde amanyikiddwa mu bubbi bwe Nte .

Ssemwogerere  ye yasoose okukwatibwa poliisi y’oku kaleerwe oluvannyuma lwa mukyala we Nagudi okumuloopa nga bwalina emmundu  era poliisi yasoose kubitwalanga bya lusaago okutuusa Diso we Kawempe Hassan Sabakaki   bwe yayingidde mu nsonga nagyayo Ssemwogerere  ku poliisi namukwasa abasirikale be n’amagye ne bakola okunoonyerezza okwavuddemu okuzuula emmundu nnamba SMG UG POLI 56368545804378.

Ssemwegerere abasirikale yasoose kubatwala Makindye ewa Mukwano gwe ayitibwa Moses gwe yagambye nti naye alina emmundu gye bakozesa ne pisito wabula nannyini mayumba Mugerwa Makula ategeezezza abasirikale nti kituufu Moses yaliwo naye yasenguka mwaka guwedde  mu December  ng’enju mulimu mupangisa mulala

Mu muzigo gwa Ssemwogerere ewa mukyala muto Nakayizi  tebalina kye baasanzeeyo  ewa  Nagudi mukyala mukulu yalaze abasirikale bba wabadde ateeka emmundunga basanzewo ennyondo eriko omusaayi ,oluvannyuma Ssemwogerere yakulembeddemu abasirikale n’abatwala ku poliisi ye Kabulengwa  awali omusirikale amupangisa emmundu .

 

Eno amagye ne Oc w’oku Kaleerwe ne ba mbega baalagidde OC ASP  Sauya Nassolo  akulira poliisi eno okuleeta abasirikale bonna  abakolera ku poliisi , bazze nga kuliko n’abamagye era Ssemwogerere nasonga ku Mbirire eyabadde ayambadde emmundu mu bulago ng’’olwabadde okumusongako abasirikale baayanguye omugimwambulamu ng’ono yategeezezza nti emmundu asula naye ekitakirizibwa mu mateeka

Baagenze mu muzigo ne basangamu amassimu mukaaga , ennyondo eno basirikale banne baamuddeko obujjulizi nti bazze bawulira nti munaabwe mubbi ng’era ku Mande yalina okukola naye teyaliwo kumulimu , emmundu ya Mbirire yasangiddwamu amasasi 4 bwe baamuzizza amalala gye gali nasirika kuba erina kubamu 30 .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bannamateeka ba Bannansi ba Rwanda...

Bannamateeka ba Bannansi ba Rwanda abaakwatibwa balaajanye

Lab2 220x290

Erias Lukwago alabudde abavubuka...

Erias Lukwago alabudde abavubuka abatava ku WhatsAapp ne Facebook

Hop2 220x290

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa...

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa

Jip1 220x290

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde...

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde obutwa

Kop2 220x290

Awonye okwokebwa abayizi be

Awonye okwokebwa abayizi be