TOP

Asimattuse obutwa mu kkomera ly’amagye

By Musasi wa Bukedde

Added 21st March 2019

Asimattuse obutwa mu kkomera ly’amagye

Jip2 703x422

Piisito). Ku mmere gye baatwalidde Minana kwabaddeko n’akatunda akakwafu, kyokka kyazuuliddwa nga byonna byabaddemu obutwa! 2 Bukedde Lwakuna March 21, 2019 amawulire Asimattuse obutwa mu kkomera ly’amagye Minana (wakati) lwe baamuleeta mu kkooti y’amagye nga bamusibye empingu ne Kitatta.

OMUSAJJA eyakwatibwa ne boofiisa ba poliisi nga babavunaana eby’e Rwanda, asimattuse obutwa mu kkomera ly’amagye e Makindye gy’akuumirwa.

Abdunoor Ssemujju amanyiddwa ennyo nga Minana baamukwata lumu ne boofiisa ba poliisi okuli Nixon Agasirwe, Joel Aguma, Herbert Muhangi eyali akulira Flying Squad, Faisal Katende n’abalala ne babavunaana emisango omuli n’egy’okukusa bannansi b’e Rwanda abaali baddukira mu Uganda ne babazzaayo e Rwanda era abamu oluvannyuma ne batemulwa ate abalala ne basibwa mu makomera g’e Rwanda.

Minana gwe baatwalidde emmere erimu obutwa y’omu ku basajja abaali batiibwa ennyo ku mulembe gwa Gen. Kale Kayihura era y’omu ku baali baakwasibwa ekkomera ly’e Nalufenya eryamanyika ennyo olw’okutulugunyizaawo abantu.

Lipoota eyakolebwa ab’akakiiko k’eddembe ly’obuntu yalaga nti abasibe bangi e Nalufenya baavaayo beekokkola erinnya Minana gwe baalumiriza nti yali mukambwe nnyo.

BAKUTTE MUKAZI WE KU BY’OLUKWE

Omwogezi w’enkambi y’amagye e Makindye (Miritale) Capt. Kato Agaba yagambye nti, mukazi wa Minana baamukutte n’akola siteetimenti, oluvannyuma ne bamukwasa poliisi ekole okunoonyereza okusingawo ku biteeberezebwa nti yeenyigidde mu lukwe lw’okuweera bba obutwa mu kkomera. Kigambibwa nti Fatuma Nassanga mukazi wa Minana, ye yasoose okukyalira bba ku makya mu kkomera ly’amagye e Makindye.

Abeebyokwerinda bateebereza nti yabadde azze kusoma mbeera n’okulaba emiwaatwa gy’asobola okukozesa okutuukiriza ‘misoni’. Oluvannyuma yazzeeyo eka n’ategeka emmere n’agiwa mutabani we omukulu agitwalire kitaawe e Makindye gy’amaze omwaka gumu n’ekitundu ng’aggaliddwa.

Minana y’omu ku bavunaanibwa emisango gy’okuwamba Vicent Kaliisa munnansi wa Rwanda nga October 23, 2013 e Lukole Bombo mu Luweero ne bamuzza e Rwanda nga tebalina lukusa. Babalumiriza nti mu kuwamba Kaliisa baakozesa bbomu n’emmundu entono (Piisito). Ku mmere gye baatwalidde Minana kwabaddeko n’akatunda akakwafu, kyokka kyazuuliddwa nga byonna byabaddemu obutwa     

Eyatutte obutwa ayita atya ku ggeeti 

  Omutaban i bwe yatuusizza emmere e Makindye, ku mulyango ogusooka yayiseewo bulungi oluvannyuma lw’abajaasi okumukebera nga talina kintu kissi kyonna.

Nassanga ne mutabani we, e Makindye bamanyiddwa bulungi nnyo kubanga be babadde batera okukyalira Minana era bwe yayise ku mulyango ogusooka, yalowoozezza nti kiwedde; kyokka ku ggeeti eyookubiri teyasusseewo. Ensonda mu nkambi e Makindye zaategeezezza nti omutabani bwe yatuuse ku ggeeti eyookubiri ne baddamu okumukebera n’ebintu byonna by’alina.

Bwe baakizudde nti yabadde atwala mmere ne bamubuuza gw’agitwalira era n’abategeeza nti Minana. Baamwekengedde ne bamulagira asooke alyeko era anywe ne ku butunda, wabula omuvubuka ne yeerema ng’agamba nti nnyina yamukomekkerezza obutagezaako kulya ku mmere eyo!.

Bwe beezinze ku muvubuka asooke alyeko ne bw’eba jjiiko emu, n’agaanira ddala, awo kwe kusalawo emmere eno esooke etwalibwe mu bakugu bagyekejje era ne kizuulwa nti mu mmere n’obutunda byombi birimu obutwa obw’omutawaana. Bwe baamaze okukizuula nti emmere erimu obutwa, omuvubuka baatandise okumukunya era ye yabatuusizza ku nnyina gye yabadde mu Kamuli B zooni e Kireka mu Munisipaali y’e Kira awali amaka ga Minana, olwo n’omukazi naye n’akwatibwa. Abajaasi baasanze Nassanga taliiwo era ne beebulungulula ennyumba.

Bwe yeekanze amagye awaka n’agezaako okudduka wabula ne bamutaayiza ne bamukwata. Baamututte e Makindye n’akola siteetimenti, oluvannyuma ne bamuweereza ku poliisi e Katwe w’akyakuumirwa. Poliisi enoonyereza ku bigendererwa by’okuwa Minana obutwa n’abayinza okubeera emabega waakyo.

Banoonyereza okuzuula oba abadde alina akakuubagano ne mukazi we, oba ng’olukwe lugazi nga luyinza n’okubaamu akakwate ku misango gy’aliko n’abantu be gyetoolerako abayinza okutaasibwa nga Minana avuddewo.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti baatutte ebyokulya n’eby’okunywa ew’omukugu wa gavumenti e Wandegeya (Government Analytical Laboratories) ne babikebera ne bazuulamu empulunguse eziringa omunnyo era bwe baazikebedde ne kikakasibwa nti butwa.

Onyango yagambye nti fayiro yategekeddwa nga Nassanga bamugguddeko omusango gw’okugezaako okutta omuntu era eggulo ku Lwokusatu n’etwalibwa ew’omuwaabi wa gavumenti nga kati balinze kuwabula kwe balyoke basalewo ekiddako. Kyokka omukazi omusango agwegaana ng’agamba nti eby’obutwa bye bamuvunaana tamanyi gye biva kubanga talina buzibu bwonna ku bba

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Angume1 220x290

Bba wa Julie Angume talabiseeko...

JULIE Angume ebintu bimutabuseeko bbaawe omupya, Sam Sekajugo bw’atalabiseeko ku mukolo gwe ogw’okumwanjula mu...

Fanayo 220x290

Obukodyo mukaaga bwe nkozesa okulembeka...

OBUYIIYA bwa ssente ebiseera ebisinga kiva ku kusoma embeera gy’otambuliramu, kati mu kaseera nga kano ak’ennaku...

Wano 220x290

Centenary bank etadde ssente mu...

Aba Centenary bank beegasse ku Bukedde famire mu nteekateeka yaabwe ey’okuddiza ku basomi ba Bukedde, abalabi ba...

Ye 220x290

Omusajja ow'ebbuba asazeesaze mukazi...

OMUSAJJA alumbye mukyala we ku bugenyi gw’alinamu abaana bana, n’amusala obulago n’amutta ng’amulumiriza obwenzi....

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.