TOP

Akakiiko ka NRM katemye mu babaka ba Buganda

By Kizito Musoke

Added 21st March 2019

Akakiiko ka NRM katemye mu babaka ba Buganda

Kab2 703x422

Ababaka ba Buganda nga bali mu lukiiko mwe baalondera abakulembeze ba Buganda Caucus ku Ridar Hotel e Mukono mu October wa 2016. Moses Kasibante ( ku kkono), Kafeero Ssekitooleko, James Kakooza, Allan Ssewanyana ( atudde) Simeo Nsubuga ne Muhammad Nsereko.

OBUTAKKAANYA mu babaka ba Buganda bweyongedde nga buva ku kibiina kya NRM okussaawo akabondo ak’enjawulo akagenda okukola ku nsonga z’ekibiina. Bino biddiridde ababaka ab’ekibiina kya NRM okusinziira mu lusirika lwabwe e Kyankwanzi ne basalawo okulonda akabondo ak’enjawulo nga kakulirwa omubaka James Kakooza nga bagamba nti akaliwo keefugiddwa ababaka b’oludda oluvuganya Gavumenti, NRM n’etekiikirirwa bulungi.

Embeera eno yawalirizza Muyanja Senyonga (Mukono South) era ssentebe w’akabondo k’ababaka abava mu Buganda bonna okuva mu lusirika ku Mmande nga terunnaggwa. Obutakkaanya bwabaluseewo ku Ssande oluvannyuma lw’ababaka abaabadde mu lusirika okusalawo okwerondamu obukulembeze bwa ‘NRM Buganda Caucus’ obukulemberwa James Kakooza (Kabula) nga ssentebe.

Oluvannyuma lw’okulonda ababaka naddala abataagenze Kyankwanzi baatandise okuteeka obubaka ku mukutu gwa WhatsApp ogubagatta nga banenya bannaabwe kye baabadde bakoze kye baayogeddeko ng’ekigendereddwamu okunafuya akabondo akabagatta bonna.

Embeera y’okuvumirira ekyakoleddwa bwe yeeyongedde, omubaka Godfrey Kiwanda (Mityana North) era eyaliko ssentebe wa Buganda Caucus yawaliriziddwa okutandika okuggya ababaka abamu ku mukutu guno.

Kiwanda y’abadde addukanya omukutu omukadde ogwakabondo ka Buganda. Ekikolwa ky’okugoba abamu ku mukutu, kyavumiriddwa n’abamu ku babaka ba NRM, era Kiwanda n’abaanukuza bukambwe n’abagoba ku mukutu.

Omukutu gwa Buganda Caucus gulaga nti ababaka abasukka mu 30 baagobeddwa okwabadde; Luttamaguzi Semakula (Nakaseke South), Haruna Kasolo (Kyotera), Lydia Mirembe (mukazi/Butambala), Francis Zaake (Mityana Munisipaali), Joseph Sewungu (Kalungu West) n’abalala. Ssentebe wa ‘Buganda Caucus’ Muyanja Senyonga bwe yalabye ng’omukutu gugobeddwaako ababaka abawera yawaliriziddwa okutandikawo omukutu omulala ogwa Whats App kwe yatadde ababaka bonna omuli n’abaabadde bagobeddwa. Okumanya ng’obutakkaanya bweyongedde waliwo n’ababaka abamu abaatuuse okusaba baleme kuddamu kusalibwako 50,000/- ezigenda mu kabondo ka Buganda Caucus buli mwezi. Akabondo ka Buganda Caucus kalimu ababaka 105 bonna awamu ng’abaalondebwa ku tiketi ya NRM baliko 75.

ABAAGIKWATAKO TWAYAGADDE KWETEREEZA- SIMEO NSUBUGA Omubaka wa Kassanda South, Simeo Nsubuga era eyalondeddwa nga munnamawulire wa ‘NRM Buganda Caucus’ ate nga ye munnamawulire wa ‘Buganda Caucus’ ayogedde ekyabateesezzaawo akabondo akalala.

Yagambye nti ababaka ba Buganda beetemamu oluvannyuma lw’okulonda kwe baalina mu December wa 2017 mwe baggyirawo ekkomo ku myaka gya Pulezidenti. N’agamba nti beesanga nga ku babaka 27 aba NRM abaagaana okuggya ekkomo ku myaka, 12 bava mu Buganda.

Embeera eno yabafiiriza ebintu bingi ng’okubeera nga tebasisinkanangako Pulezidenti era nga ye ssentebe wa NRM wadde ng’azze asisinkana obubondo obulala. Mu kiseera ng’ekibiina kikulemberwa abakulembeze abatakwatagana na bigendererwa bya NRM ng’ekyokuwagira pulezidenti Museveni okwesimbawo mu 2021 nga tavuganyiziddwa kyabadde kyetaagisa okulonda obukulembeze obutaamuwe buzibu.

Nsubuga yagambye nti ekitundu kya Buganda abavuganya we basinze okusimba amakanda, ng’aba NRM ekizibu kino kibakakatako okukinogera eddagala ng’abakkiririza mu langi ya kyenvu. “Kyokka ffenna tukyakkiriza nti Muyanja Ssenyonga y’atukulembera mu nsonga ezitugatta nga Buganda, naye bwe kituuka ku bya NRM tulinda Kakooza n’aduumira,” Simeo Nsubuga bwe yagambye.

HAJJI MUYANJA MBABAALI Eyalondeddwa ku kifo ky’obuwanika bwa ‘NRM Buganda Caucus’ yagambye nti akabondo kaabwe kali wansi w’akabagatta akalulemberwa Muyanja Ssenyonga.

Yagambye nti bajja kusigala nga batuula mu kabondo ka Buganda, kyokka nga balina akaabwe nga aba NRM.

PETER SEMATIMBA (Busiro South); Ekyakoleddwa kyabadde kibalo kya babaka ba NRM okusobola okutumbula ekibiina kyaffe era lye limu ku kkubo lye tugenda okukozesa okusakira Buganda twongere okwekulaakulanya. Ekikolwa eky’okuggya ababaka abamu ku mukutu gwa WhatsApp yakivumiridde n’agamba nti wadde nga bali mu bibiina byanjawulo, kyokka akkiriza nti bonna baweereza Ssaabasajja.

 JAMES KAKOOZA (Kabula)Eyalondeddwa ku bwa ssentebe bwa NRM Buganda Caucus yagambye nti ajja kutuuza olukiiko lwa bannamawulire alambulule kye baagenderedde.

ABAWAKANYA BAWERA Florence Namayanja (Bukoto East) era omuwandiisi wa Buganda Caucus yagambye nti, babadde batambudde bulungi ng’ababaka abava mu Buganda nga bonna bali bumu wadde baawukanya amawanga n’eddiini.

Ekyakoleddwa yakiyise kwawula mu basajja n’abazaana ba Kabaka. Joseph Gonzaga Ssewungu (Kalungu West); “Ababaka ba NRM basazeewo okulya mu Buganda olukwe basobole okutuukiriza ebigendererwa bya Museveni.

Buganda Caucus teyawula ndowooza za byabufuzi wadde amawanga kuba eriwo kulwanirira Kabaka ne Buganda era okuggyawo Muyanja Ssenyonga olw’okuba teyawagira kyakuggya kkomo ku myaka gya pulezidenti kiraga nti omulamwa baaguvaako,”Sewungu bwe yagambye.

Moses Kasibante (Lubaga South) yavumiridde ekyakoleddwa n’agamba nti kigendereddwa kunafuya kabondo ka Buganda. “Bwe kutaba kunafuya batubuulire abakulembeze b’ababaka ba NRM mu Ankole oba Teso? Bakimanyi bulungi nti Buganda Caucus obuweereza bwayo buli Mmengo kyokka tetutudde okutuusa nga tukangavvudde abaabikoze,” Kasibante bwe yagambye.

Luttamaguzi Ssemakula (Nakaseke South) yategeezezza nti, yabadde asuubira nti e Kyankwanzi bateesa bintu ebikwata ku ggwanga lyonna, kyokka kyamwewuunyisizza okulaba nga batandise kulondesa babaka ba Buganda. Yaweze nga bw’ajja okusigala ng’amanyi Senyonga ng’omukulembeze waabwe, wadde nga waliwo abagezaako okumusindiikiriza olw’okwenoonyeza ebifo ne ssente okuva ewa Pulezidenti.

Gaffa Mbwatekamwa (Kasambya) ekyakoleddwa yakuyise kunyooma Ssemateeka afuga ababaka ba Buganda bonna kubanga kino kiraga nti mutandise okulabikamu abaana n’ebyana. Mmengo esaana okwewala okukolagana n’abalondeddwa kuba bagenda kuleetawo akavuyo. n’okubuzaabuza abantu.

MMENGO EKYETEGEREZA ENSONGA Noah Kiyimba, omwogezi w’Obwakabaka bwa Buganda yagambye nti; eby’obubondo byombi twabiwulidde nga Mmengo kubanga bonna bantu ba Ssaabasajja. Ensonga eno tukyagyetegereza era tujja kukyogerako ng’olukiiko olufuzi era oluvannyuma tuveeyo n’okuluhhamya okwenjawulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bannamateeka ba Bannansi ba Rwanda...

Bannamateeka ba Bannansi ba Rwanda abaakwatibwa balaajanye

Lab2 220x290

Erias Lukwago alabudde abavubuka...

Erias Lukwago alabudde abavubuka abatava ku WhatsAapp ne Facebook

Hop2 220x290

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa...

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa

Jip1 220x290

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde...

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde obutwa

Kop2 220x290

Awonye okwokebwa abayizi be

Awonye okwokebwa abayizi be