TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Meeya wa Makindye akunze abantu ku katabo ka Wakiso

Meeya wa Makindye akunze abantu ku katabo ka Wakiso

By Musasi wa Bukedde

Added 21st March 2019

Meeya wa Makindye akunze abantu ku katabo ka Wakiso

Top3 703x422

MEEYA wa Makindye Ssaabagabo, Gerald Lumbuye yeegasse ku bakulembeze banne abalala n’akunga abantu bonna abalina emirimu oba bizinensi eza buli kika okulangira mu katabo ak’enjawulo Bukedde k’egenda okufulumya ku disitulikiti y’e Wakiso.

BUKEDDE etegese okufulumya akatabo ak’enjawulo ku disitulikiti y’e Wakiso nga March 28, 2019.

Meeya Lumbuye yakubirizza naddala abatuuze b’e Makindye Ssaabagabo okwekwata akatabo kano nga kafulumye basome ku bye bafulumirizzaamu ebikwata ku kitundu kyabwe bamanye ebigenda mu maaso n’enteekateeka ez’omu maaso.

Meeya yakubirizza abasuubuzi, ab’amasomero, abalina bye bakola ng’abalunzi, ebifo ebisanyukirwamu ne bizinensi ey’engeri yonna, bonna bajje mu Bukedde balange bye bakola abantu babimanye basobole okukulaakulanya emirimu gyabwe.

Mu bimu ku binabeera mu katabo kano, kwe kutunuulira emikisa egiri mu Wakiso egy’okukola ssente, n’okutunuulira ku nteekateeka ey’okukuza Wakiso etuuke ku mutendera gw’ekibuga ekinene nga kirimu enkulaakulana eteekeddwateekeddwa obulungi.

Meeya Lumbuye yatemezza ku bantu abandyagadde okubaako emirimu gye batandikawo mu Makindye ssabagabo n’abakunga beeyunire ekitundu kino olw’engeri gye kikulaakulanamu ng’ebintu ng’enguudo n’ebirala biri mu kukolwako okulogoosa embeera yaakyo. Abantu bonna abaagala okulangira mu katabo kano basabibwa okukuba ku nnamba ssimu zino okuli: 0772404772 ne 0775300584

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wano 220x290

Centenary bank etadde ssente mu...

Aba Centenary bank beegasse ku Bukedde famire mu nteekateeka yaabwe ey’okuddiza ku basomi ba Bukedde, abalabi ba...

Ye 220x290

Omusajja ow'ebbuba asazeesaze mukazi...

OMUSAJJA alumbye mukyala we ku bugenyi gw’alinamu abaana bana, n’amusala obulago n’amutta ng’amulumiriza obwenzi....

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...