TOP

Abakugu boogedde ekigaanyi enkuba okutonnya

By Musasi wa Bukedde

Added 21st March 2019

Omuyaga ogwagoyezza ab'e Mozambique gwe gulemesezza enkuba okutonnya mu Uganda

Destwebuse 703x422

Olumu ku lutindo olwamenyeddwa amataba agaavudde ku muyaga gwa Cyclone Idai e Zimbabwe

Bya Musasi Waffe

Abakugu mu by’enteebereza y’obudde mu mawanga g’obuvanjuba bwa Afrika bannyonnyodde kiki ekivuddeko enkuba okwesiba.

Eggwandiikiro lw’ekibiina ekitaba bannamawulire abasaka ag’embeera z’obudde ekya Network of Climate Journalists of the Greater Horn of Africa (NECJOGHA) mu kiwandiiko kye lyafulumizza ku Lwokusatu lyagambye nti, abakulira eby’enteebereza y’obudde mu Uganda, Kenya ne Tanzania bakkaanyizza nti omuyaga Cyclone Idai ogwagoya ab’e Mozambique, Zimbabwe ne Malawi ne gutta abantu n’okwonoona ebizimbe gwe guvuddeko enkuba obutatonnya.

“Omuyaga guno guli ng’ebbaafu nga gusika empewo yonna eyandibadde ereeta eno enkuba n’ekung’aanira wamu,” James Bataze omukugu mu ntebeereza y’obudde mu Uganda National Meteorological Authority (UNMA) bwe yagambye.

 gamu ku mayumba agaayonooneddwa omuyaga Agamu ku mayumba agaayonooneddwa omuyaga

 

Festus Luboyera, akulira UNMA naye oluvannyuma yafulumizza ekiwandiiko n’akakasa ensonga eno era okufaananako Bataze yagumizza abalimi nti balindeko okusiga okutuusa ku nkomerero y’omwezi guno enkuba bw’eneeba ezzeemu okutonnya kubanga omuyaga kati gugenda gukkakkana.

Muky. Stella Aura, akulira ekitongole kya Kenya ekivunaanyizibwa ku nteebereza y’obudde ekya Kenya Meteorological Department (KMD) naye mu kiwandiiko kye yafulumizza yagambye nti, ekyeya ekiri mu ggwanga lyabwe kati nakyo kiva ku muyaga guno Cyclone Idai. Wabula Aura yagambye nti basuubira enkuba okutonnya ng’omwezi gwa April gutandika.

E Kenya mu kitundu ky’e Turkana abantu bana be baakakakasibwa okufa enjala ng’eva ku kyeya kino era nga kyategeezeddwa nti abantu kakadde be batalina ke bazza eri mumwa.

 miti egyakubye mmotoka nebizimbe Emiti egyakubye mmotoka n'ebizimbe

 

Mu Uganda, ekitundu kya Karamoja ekisalagana ne Turkana nakyo abantu banaatera okutondoka enjala ate gwajabagidde bwe kyategeezeddwa nti abantu basatu baafudde oluvannyuma lw’okulya emmere ey’obuyambi eyabadde etwaliddwaayo ekibiina kya World Food Programme (WFP) eteeberezebwa nti yabadde ya butwa.

Ku muliraano e Tanzania, akulira ekitongole ky’enteebereza y’obudde ekya Tanzania Meteorological Agency (TMA), Dr. Agnes Lawrence Kijazi naye mu kiwandiiko kye yafulumizza yalaze nti n’ewaabwe enkuba obutatonnya mu bitundu ebisinga kivudde ku muyaga Idai okusika empewo ezandibadde zireeta amazzi.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kibowa13webuse 220x290

Abakyala mwekolemu ebibiina mufune...

Abakyala b'e Mukono bakubiriziddwa okwekolamu ebibiina bafune ku ssente za Gavumenti ezitaliiko magoba n'okuwagira...

Acaya1webuse 220x290

Omuyizi akoze mmotoka ne yeewuunyisa...

Omuyizi Francis Ocaya akoze mmotoka ne yeewuunyisa Ababaka ba Palamenti ne bamusuubiza omulimu

Abamukubamusigansimbiabataddemuensimbiokuzimbazikabuyonjongabawayaamunabamukubaanawebuse 220x290

Temusimbira nkulaakulana kkuuli...

Abagirimaani bazimbidde essomero ly'e Ntenjeru kaabuyonjo ey'omulembe

Omulyangogwambabaziogwateeredwaakoebyokoolawebuse 220x290

Ebigambibwa okuba ebyokoola bisasamazza...

Omusaayi ogumansiddwa ku luggi lw'omutuuze nga kuliko ebbaluwa etiisatiisa okufa okumusemberedde bisattizza ab'e...

Abolukiikolwamukonodevelopmentforummdfngabatandiseokukolaemirimugyabwe 220x290

Olukiiko oluyamba Mmeeya okukulaakulanya...

Olukiiko olw'okuyambako Mmeeya w'e Mukono okukulaakulanya ekibuga lusomeseddwa ku nkola y'emirimu gyalwo