TOP

Omusawo bamukutte kufera bantu

By Musasi wa Bukedde

Added 21st March 2019

Omusawo bamukutte kufera bantu

Fut2 703x422

Bamugahare gwe bavunaana.

OMUSAWO eyeekebejja omusaayi bamukutte lwa kufera bantu n’abaggyako ssente ng’abalimbye okubafunira emirimu mu America. Julius Bamugahare, omutuuze w’e Kyebando kisalosalo omusawo mu ddwaaliro lya Victorious e Wandegeya ng’abatuuze baamukazaako lya Dokita yakwatiddwa ofiisi y’omubaka wa pulezidenti e kawempe oluvannyuma lw’abantu abawerako okumuwaako obujulizi nga bwe yabaggyako ssente ng’abasuubizza emirimu mu America n’atabatwala.

Okumukwata yasoose kwefuulira be yaggyako ssente abaabadde bagenze okumubanja n’abayitira abaserikale ng’agamba babbi ab’emmundu era baakwatiddwa ne batekebwako empingu wakati mu lujjudde lw’abantu abaabadde baagala okubakuba, ku bano kwabaddeko; Bony Lukungu eyagambye nti singa abaserikale ba RCD tebaayanguye ku bataasa osanga abantu bandibakubye ne babatta nga babayita babbi kyokka nga baabadde bagenze kubanja.

Abaserikale nga bamaze okuzuula ekituufu baakutte Bamugahare ne babowa n’emmotoka y’ekika kya Primo nnamba UAJ 828R be yafera gye balumirizza nti gye yakozesanga okubatwala e Mukono ku kkanisa ya Double Happiness esangibwa mu maaso ga poliisi gye baasasulira ssente ezimu ng’abagambye omusumba abikolako muntu wa mazima tasobola kubabba.

Abamu ku baamulumirizza kuliko; Glades Nanoze 29 ow’e Mpererwe, Rachael Muyoka 30 ow’e Sseguku, Evelyn Nanvule 26 ow’e Kawempe Ttula n’abalala baategeezezza nti, nga bamaze okutegeera nti, Bamugahare ababbye baamuloopa ku poliisi y’e Kawempe kyokka n’akozesa owa poliisi mayinja asatu gwe yagamba nti muganda we n’ayimbulwa ng’akakasizza okusasula abamubanja n’atakikola. Nanoze yategeezezza nti, mu August w’omwaka oguwedde waliwo eyamuyunga ku Bamugahare okumufunira omulimu mu America nga yamusaba ssente obukadde 400,000/- .

Yagambye olw’okuba baali bamukakasizza omulimu gumulinze n’atunda poloti ye e Mityana n’amuwa ssente. Yayongeddeko nti baali baakugenda nga August 15, bwe zatuuka n’atandika okubabuzaabuzza nti, balindeko kuba okufuna Viza ya America si kyangu nga wano abamu baamukwata ne bamutwala ku poliisi n’akola endagaano n’akkiriza okubasasula nga kati abamu abamubanja abatiisatiisa nga bw’agenda okubatuusako obulabe singa bagenda mu maaso n’ensonga.

Muyoka, Nanvule n’abalala baategeezezza nti buli omu yamusabanga ssente za njawulo okuva ku 200,000/ naye waliwo beyaggyako ezisoba mu bukadde era baamuggulako emisango ku poliisi y’e Kawempe ku fayiro nnamba SD REF: 67/18/12/2018, SD REF: 70/18/12/2018, SD REF:71/18/03/2019 n’emirala

BARUGAHARE AYOGEDDE Bamugahare yasoose kuba mukambwe oluvannyuma yategeezezza nti, kituufu abantu yabaggyako ssente naye waliwo omusumba Geofrey Baliddwa Bambala ow’ekkanisa ya Double Happiness e Mukono gwe yazitwalinga nga y’alina okukwatibwa

OWA POLIISI GWE BALUMIRIZZA AYOGEDDE

ASP Herbert Mukuza akolera ku poliisi y’e Nalumunyyategeezezza Bukedde ku ssimu nti, Bamugahare amulinako oluganda naye tekitegeezza nti alina okutwalira amateeka mu ngalo, yagambye nti Bamugahare ng’amaze okufuna ebizibu yamutegeezzako ne boogera n’abamubanja n’asuubizza okubasasula ng’ensonga zaali ku poliisi y’e Kawempe eyamuwa akakalu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Plane22 220x290

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi...

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi

Ssaavanaluvule1 220x290

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi...

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi ne batalabikako alula!

Img2247 220x290

Eyatutte omwana okumutuuma amannya...

OMUWALA aludde ng'alimba omuvubuka nga bw'alina olubuto lwe aliko omwana gw'amutwalidde wabula ne gamwesiba bwe...

Throw 220x290

Abavubira ku nnyanja Kyoga basatira:...

ABAVUBI ku nnyanja Kyoga basattira olw’amagye okulangirira nti essaawa yonna gayingirawo okufuuza envuba embi....

Malemabiriizi9 220x290

Mabirizi azzeeyo mu kkooti ku bya...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi azzeeyo ku kkooti Ensukkulumu n’ateekayo omusango ayagala esazeemu ensala y’Abalamuzi...