TOP

Nja kufiira ku babba eddagala - Ssentebe

By Musasi wa Bukedde

Added 21st March 2019

Nja kufiira ku babba eddagala - Ssentebe

Wab2 703x422

SSENTEBE wa disitulikiti y’e Kyotera Patrick Kintu Kisekulo aweze okufaafaagana n’abasawo mu malwaliro ga Gavumenti abeenyigira mu kubba eddagala. N’agamba nti tajja kutalizza n’abeebulankanya ku mirimu.

Kisekulo yanokoddeyo eddwaaliro lya Nkenge Health Center ll mu ggombolola y’e Kasaali ne Buyiisa Health Center ll mu ggombolola y’e Kirumba gy’agamba nti we wasinga obubbi bw’eddagala n’agamba nti abakuumi ku malwaliro n’abaserikale abamu batwaliddwa mu kkooti ne bavunaanibwa.

Yabadde ku mukolo gw’okukwasibwa ebyuma eby’omulembe ebyateekeddwa mu ddwaaliro lya Gavumenti e Kaliisizo ebiyamba ku bakyala abazaala n’abaana abazaalibwa nga tebatuuse kwossa n’ekifo ekiyamba ku bawala abazaala nga kyali bato ng’ekitongole kya Brick By Brick ekikulirwa Pookino wa Buddu Vincent Mayiga Ssebbowa be baakitaddemu ssente.

Ekitongole kino kirina pulogulaamu yaakyo eya BAMA (Babies And Mother’s Alive) ekiruubirira okulaba ng’omwana ne maama babeera balamu era nga baagulidde eddwaaliro lino ebyuma eby’omulembe ebiyamba abaana abazaalibwa nga tebatuuse okukula obulungi.

Dr. Eleanor Nakintu akulira BAMA agamba nti baasalawo okuyamba ku malwaliro ga Gavumnenti oluvannyuma olw’okunoonyereza okwakolebwa mu disitulikiti y’e Kyotera ne Rakai ne bakizuula nti bamaama bangi bafiira mu ssanya n’abaana baabwe olw’okubulwa obuyambi obwetaagisa.

Pookino bwe yabadde akwasa disitulikiti ebintu bino yabasabye okubikozesa obulungi baleme kwesigula nti bajja kufuna ebirala. RDC w’e Kyotera Maj. David Matovu naye yalabudde okufaafaagana n’abattatanye omutindo gw’amalwaliro ga Gavumenti.

N’agamba nti balina okuggyamu abalinga kawuukuumi mu bijanjaalo basigaze abaagala okukola n’obuvunaanyizibwa emirimu gitambule obulungi n’abalwadde baleme kunyigirizibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Plane22 220x290

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi...

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi

Ssaavanaluvule1 220x290

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi...

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi ne batalabikako alula!

Img2247 220x290

Eyatutte omwana okumutuuma amannya...

OMUWALA aludde ng'alimba omuvubuka nga bw'alina olubuto lwe aliko omwana gw'amutwalidde wabula ne gamwesiba bwe...

Throw 220x290

Abavubira ku nnyanja Kyoga basatira:...

ABAVUBI ku nnyanja Kyoga basattira olw’amagye okulangirira nti essaawa yonna gayingirawo okufuuza envuba embi....

Malemabiriizi9 220x290

Mabirizi azzeeyo mu kkooti ku bya...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi azzeeyo ku kkooti Ensukkulumu n’ateekayo omusango ayagala esazeemu ensala y’Abalamuzi...