TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abayizi n’abaana nabo basobola okulumirirwa abalala mu kisiibo

Abayizi n’abaana nabo basobola okulumirirwa abalala mu kisiibo

By Musasi wa Bukedde

Added 21st March 2019

Abayizi n’abaana nabo basobola okulumirirwa abalala mu kisiibo

Gat2 703x422

OKUYAMBA abali mu bwetaavu y’emu ku mpagi z’Ekisiibo. Empagi eno abantu bangi bakaluubirirwa okugituukiriza, naddala bwe babeera mu mbeera ey’obwavu. Sr. Mary Claire Nakubulwa ow’ekibiina kya Bannabiikira era nga ye mukulu w’essomero lya Our Lady Queen of Africa SS, Lubaga, agamba nti obwavu teyandibadde nsonga egaana muntu kuyamba balala, kubanga omuntu asabibwa kuwaayo ekyo ky’asobola, oba ky’aba teyeetaaga nnyo. Sr. Claire agamba nti kyandibadde kirungi abaana ne bayigirizibwa obukulu bw’okugaba nga bakyali bato, oba nga bakyali mu ssomero.

“Ekiseera kino tulina bingi ebisoomooza Obukristu bwaffe. Abantu bangi beerowoozaako bokka, era ne beekuηηanyiza ebintu bingi, ebimu nga n’okubyetaaga tebabyetaaga. Omulugube gw’ebintu guleetera abamu obutalowooza ku bali mu bwetaavu.

Ate waliwo n’Abakristu abadda mu kwekubagiza olw’obwavu obuliwo ensangi zino, bwe batyo ne bakomekkereza nga tebayambye balala.

“Tetusaanidde kulowooza nti abo abalina be bokka abateekeddwa okugaba ku byabwe. Ne bwoba nga tolina bingi, osobola okuyamba abo abakusinga okubeera obubi. Mu Bayibuli tusoma ku Nnamwandu eyawaayo eppeesa, kyokka Omukama n’amusiima nnyo n’okusinga abagagga abaatona omudidi.

Ate tujjukire nti ne ssente z’obuyambi obuva ebweru ze tukozesa mu ddiini, n’ebibiina by’obwannakyewa, ezisinga ziweebwayo bantu banaku. “Tusaanye era okukimanya nti okusiiba tekusinziira ku myaka omuntu gy’alina. Abakulu n’abato bonna basobola okubaako ne kyebatona. Ate era ggwe wamma abato tufube okubateekamu omutima ogugaba nga bakyali bato.

“Ffe wano mu ssomero lyaffe erya Our Lady Queen of Africa Girls Secondary School Lubaga tulina enkola eyamba abayizi baffe okutegeera obukulu bw’okuyamba abanaku. Obudde bwa Kalema bwe butuuka, tuteekawo obubokisi mwe bateeka ssente, mu nkola eya kyeyagalire.

Weewunye ssente zino bazijja ku ‘pocket money’ waabwe abazadde gwe baba babawadde. Abayizi era tubafunira ekifo eky’enjawulo, we basobola okuteeka ebintu ebikalu.

“Ekisiibo bwekiggwako, tufunayo amaka g’abaana abataliiko mwasirizi, oba Bakateyamba, ne tugatonera ssente zonna n’ebintu ebyo ebikalu. Matayo 25:31-46: Bwe nnali omuyala wampa ekyokunywa, bwe nnali omuyonta wampa eky’okunywa, bwe nnali obukunya wampa eky’okwambala, bwe nnali omulwadde wanzijanjaba, bwe nnali mu kkomera wankyalira, jangu mu Bwakaaka bwa Kitange ”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600