TOP

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza emmeeme

By Musasi wa Bukedde

Added 21st March 2019

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza emmeeme

Kab3 703x422

Abakyala abamu nga baakafuna embuto batera okuyisibwa obubi. Mu mbeera eno batera okufuna ekizibu ky'okusinduukirirwa emmeeme oluusi n'okusesema.

Abamu waliwo ebyokulya bye bakyawa ne kivaako okubeera abanafu ebiseera ebisinga n'okulabika ng'abalwadde.

Sarah Igoyoola, omutuuze ow’e Kapulinseni ku Nabirumba Road mu kibuga ky’e Kamuli, yagambye nti e Busoga, embeera y’omukyala eno bagiyita “yyoyo.” Embeera nga eno omukyala okutereera weekwate ekiyondo e Busoga kye bayita 'ekisanaasana'. Okukukolera obulungi, sima emirandira egy’ekiyondo ogyozeeko oluvannyuma ogisekulire mu kinu.

Bwe gigonda nga gitandise okuvaamu amazzi gisse mu kikopo ky'amazzi amayonjo onywengako ebipimo ebigere mu biseera ebigere.

Mu nnaku bbiri, ojja kutandika okuwulira ng’okusiikuuka emmeeme kugenda kukendeera mpola okutuusa lwotereera. Ekiyondo kijja kuyamba omubiri okufuna amaanyi kubanga okusesema kujja kukkakkana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Starleaguenov162019kccabtvipers10kizzaandwilla2 220x290

KCCA FC ekubye Vipers awaluma

KCCA FC emezze Vipers SC egikyalidde e Lugogo ku kisaawe kya Star Times ku ggoolo 1-0 ng’eteebeddwa Mike Mutyaba...

Buza 220x290

Omusajja omukodo abuza omuliro...

TEWALI kintamizza basajja nga bukodo. Balinga abatamanyi nti omukyala yenna aweebwa kubanga kibi nnyo okukama ente...

Wuga 220x290

Omulwadde wa siriimu asobola okuzaala?...

NDI mukyala ayagala waakiri okuzaalayo omwana omu kubanga nnina siriimu. Naye ssenga, kandida annuma naye neebuuza...

Jino 220x290

Ow’emyaka 90 alumirizza ekkanisa...

NNAMUKADDE ow’emyaka 90 alumirizza ab’ekkanisa ya Uganda okumutundira mu ttaka ly’abaddeko emyaka egisoba mu 60....

Linda 220x290

Stecia awadde Julie obukwakkulizo...

ABAYIMBI n’abasuubuzi bongedde ebbugumu mu nteekateeka y’emikolo gy’okwanjula kwa Julie Ssemugga egisuubirwa okubeerawo...