TOP

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye

By Musasi wa Bukedde

Added 21st March 2019

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye

Fot2 703x422

Mulimu abantu abafuna ekizibu ky'olubuto okwesiba era abamu ne kivaako ekizibu ekirala nga okugwa emmeeme ey'emabega. Annet Nanyondo omutuuze w'e Kasambya Mubende yagambye nti olubuto okwesiba kiva ku nsonga ez'enjawulo.

Kuno kuliko okulya ebintu ebingi ebikaluba wabula n'otanywa mazzi oba okunywa amatono. Omubiri obutakola dduyiro nakyo kiyinza okuvaako olubuto okwesiba kuno gattako n'obucaafu obusukkiridde mu mubiri. Ssinga oba ofunye ekizibu nga kino ekiyinza okukuyamba okutereera amangu funa omucuula.

Noga ebikoola by’omucuula obifumbe bigye bulungi oluvannyuma kenenulamu amazzi onywe nga gakyalimu ekibuguumirize ebikopo bibiri olunaku ku makya n'olweggulo. Olubuta lujja kutandika okugulumba okukkakkana ng'otandise okufuluma.

Olubuto bwe lugonda kendeeza ku ddagala onywe ekitundu kya tampeko. Bw'oba olina ekizibu ky'emisuwa obutatambuza bulungi musaayi weekwate omucuula.

Fumba onywe waakiri ekitundu kya tampeko olunaku. Kiyamba okukendeeza amasavu mu misuwa omusaayi ne gutambula bulungi. Omucuula bw'oba ogukozesa fuba nnyo okulaba nga buli lwoba ogenda okunywa osooka kugubugumyako ku kyoto kubanga gukola bulungi ng’ogunywedde gulimu ekibuguma

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Plane22 220x290

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi...

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi

Ssaavanaluvule1 220x290

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi...

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi ne batalabikako alula!

Img2247 220x290

Eyatutte omwana okumutuuma amannya...

OMUWALA aludde ng'alimba omuvubuka nga bw'alina olubuto lwe aliko omwana gw'amutwalidde wabula ne gamwesiba bwe...

Throw 220x290

Abavubira ku nnyanja Kyoga basatira:...

ABAVUBI ku nnyanja Kyoga basattira olw’amagye okulangirira nti essaawa yonna gayingirawo okufuuza envuba embi....

Malemabiriizi9 220x290

Mabirizi azzeeyo mu kkooti ku bya...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi azzeeyo ku kkooti Ensukkulumu n’ateekayo omusango ayagala esazeemu ensala y’Abalamuzi...