TOP

Lukwago atongozza ebimmotoka ebiyoola kazambi

By Ponsiano Nsimbi

Added 22nd March 2019

Lukwago atongozza ebimmotoka ebiyoola kazambi

Rip2 703x422

BANNAYUGANDA  beegase ku nsi yonna okukuzza olunaku lw'amazzi ne sabiiti y'obuyonjo ng’emikolo emikulu mu Kampala gikwatiddwa mu  Nkere zone mu muluka gwa Kibuye I mu munisipaali ye Makindye.

Emikolo gyatandise nakukola bulungi bwansi oluvannyuma  Loodi meeya  Ssalongo Erias Lukwago  eyabadde omugenyi omukulu kwe yatongoza ebimmotoka ebikozesebbwa mu kuyola kazambi mu kabuyonjo nga bino byaweredwayo banakyewa aba Water for People.

Lukwago yasinzedde wano nalabula kkampuni ya Homekline eyawebwa tenda y’okuyola kasasiro mu  Kampla obutadamu kusaba tenda ndala kubanga eremeddwa okukola omulimu ogwagikwasibwa.

Omukolo gwetabiddwako abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo okuli n’omubaka we kitundu Allana Ssewanyana eyakubiriza abatuuze okukozesa omukisa gwe bafunye okutumbula eby’obuyonjo mu maka gabwe n’omukamanya nti ekitundu kyabwe kifuse kyakulabirako eri Kampala yonna.

Meeya wa munisipaali eno Ali Nganda Kasirye Mulyanyama yeebazizza abantu bonna abakiriza okuwayo ettaka lyabwe okubasobozesa okukola n’okugaziya enguudo mu kitundu .

Mungeri ye aba wetaase balonze Noelinah Namagembe ng’omutuuze asinze obuyonjo era ono Lukwago yamukwasiza ebirabo okumusiima

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bannamateeka ba Bannansi ba Rwanda...

Bannamateeka ba Bannansi ba Rwanda abaakwatibwa balaajanye

Lab2 220x290

Erias Lukwago alabudde abavubuka...

Erias Lukwago alabudde abavubuka abatava ku WhatsAapp ne Facebook

Hop2 220x290

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa...

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa

Jip1 220x290

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde...

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde obutwa

Kop2 220x290

Awonye okwokebwa abayizi be

Awonye okwokebwa abayizi be