TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mayanja Mbabali asekeredde abavubuka abali mu kulera engalo

Mayanja Mbabali asekeredde abavubuka abali mu kulera engalo

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd March 2019

Mayanja Mbabali asekeredde abavubuka abali mu kulera engalo

Hap2 703x422

Bya Tumupende Florence 

ABALIMI,abalunzi n'abasuubuzi abegattira mu kibiina kya Kinoni Traders mu disitulikiti y'e Lwengo balabuddwa okuggya eby'obufuzi mu nkulakulana lwe banaggya okwekulakulanya. 

   " Ekibiina kino singa kyayitimuka dda n'okusingako wano wekiri naye ekibasse kiri kimu mugasse eby'obufuzi mu nkulakulana.     Gundi tawagira gundi ate nze saagala gundi ebyo tebikola mu kibiina abaffe mugenda kukulakulana mutya ng'abandibasomoseza mu besamba. 

Mbawa gabuwa omuntuwo bwaba yaggwa kwana omukwano n'oyo eyayitamu ate n'oli tomusuula muguluka mwagazise ekibiina kyo nga gwe omanji akakoddyo ne goolo ebininakutuusa ku kirooto kyo". 

Bino byogeddwa omubaka wa Bukoto South Hajji Muyanja Mbabaali bwabadde aggalawo omwaka gw'ekibiina bukya kitandikawo mu mwaka gwa 2016.      Hajji Mbabaali akuutidde abalimi okwewala okunoga emwanyi ento bwebaba baagala okufuna ensiimbi ezegasa.

Wano akyuukidde abavubuka abegayaliridde mu kwenyigira mu bibiina nakabatema nga bwe batagenda ku gaggawala kuba Pulezidenti Museveni agabira abo ababa betegese ate nga bali kitole. 

ye Sentebe w'ekibiina kino Joseph Kabanda asabye Gavumenti okutandikirawo abalimi n'abalunzi amaduuka amatuufu mwe bagula ensigo,n'eddagala kiyambeko okukendeeza ku bafere abayitiridde okubacupula. 

Mungeri y'emu asambaze ebyogerwa nti ekibiina kino kya bagaggga boka nasaba n'bavubuka okukyeyunira kuba tekisosola mu ddiini yadde obuwangwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA