TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mujje mu Bukedde mulange bye mukola - Minisita Seninde

Mujje mu Bukedde mulange bye mukola - Minisita Seninde

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd March 2019

Mujje mu Bukedde mulange bye mukola - Minisita Seninde

Rat2 703x422

Minisita Seninde

MINISITA w’ebyenjigiriza ebisookerwako era omubaka wa disitulikiti y’e Wakiso omukazi, Rose Seninde akunze Bannawakiso naddala abalina emirimu egivaamu ensimbi, bajje balangire mu katabo akenjawulo Bukedde keetekese okufulumya ku disitulikiti ya Wakiso.

Yagambye nti guno omukisa Bukedde gwereese okuwandiika ku Wakiso n’ebirungi by’erina gusaanye okweyunirwa buli muntu ali mu Wakiso asobole okutumbula bizinensi ye eya buli kika gyakola yeeyongere okugifunamu.

Ssenninde bino yabyogeredde mu nsisinkano gyeyabaddemu ne Bukedde abaamusisinkanye wali mu makaage e Nangabo Kasangati mu Wakiso.

Yagambye nti mu Wakiso mulimu ebintu bingi abantu byebatamanyi noolwekyo kyandibadde kirungi newekwata akatabo kano ku Wakiso n’omanya buli kigenda mu maaso mu Wakiso naddala ng’abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo bakunnyonnyola akawonvu n’akagga byebateeseteese okukolera ekitundu.

Yawadde eky’okulabirako nti mu nkulaakulana, kati tewali kitundu kisinga Wakiso kudduka misinde mu buli kimu era abantu yandibadde abawa amagezi okwettanira emikisa egiri mu Wakiso bakole ssente, ng’ekising obukulu eri abo abakoleramu emirimu bajje mu Bukedde balange bizinensi zaabwe zikulaakulane kubanga zijja kuba nga zimanyiddwa.

Akatabo kano kakufuluma nga March 28, 2019, ku Lwokuna lwa wiiki ejja. Ggwe alina ekirango kyo kuba ku nnamba zino: 0775300584 ne 0772404772

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Walk 220x290

Batankanye enfa ya Bannayuganda...

POLIISI ebakanye n’okunoonyereza ku gimu ku mirambo gya Bannayuganda egyakomezeddwaawo okuva mu Buwarabu gye bafi...

Title 220x290

Kayihura bamutaddeko nnatti obutalinnya...

GAVUMENTI ya Amerika eweze eyali omuduumizi wa poliisi, Gen. Edward Kale Kayihura okulinnya ekigere mu ggwanga...

Pala 220x290

Ebya Nagirinya biyingiddemu omukazi...

POLIISI eyongedde okugaziya okunoonyereza kwayo mu kutemula Maria Nagirinya, bwegguddewo fayiro ku mukyala omu...

Rermanamakula 220x290

Rema amalirizza okugula eby’omukolo...

OMUGOLE Rema Namakula akomyewo okuva e Buyindi ne mu Butuluki na ssanyu era agamba tewali ayinza kwekiika mu mukolo...

Img20190831wa0235209984377320145757 220x290

Ebikwata ku kusoma kwa Sebunya...

HAMZAH Sebunya, bba wa Rema omupya yasooka kukuguka mu by’okukebera omusaayi mwe yatikkirwa dipulooma mu November...