TOP
  • Home
  • Amawulire
  • ssebuggwawo alonze olukiiko lw’ettaka ne kkooti ya LC III

ssebuggwawo alonze olukiiko lw’ettaka ne kkooti ya LC III

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd March 2019

ssebuggwawo alonze olukiiko lw’ettaka ne kkooti ya LC III

Tip2 703x422

MEEYA wa Lubaga, Joyce Nabbosa Ssebuggwawo alonze bammemba abapya abatuula ku kkooti ya LC III n’olukiiko lw’ettaka mu Lubaga n’abalagira okutandikirawo emirimu.

Bwe yabadde ayanjulira bakansala amannya ga bammemba be yalonze okugakakasa, Ssebuggwawo yagambye nti wabaddewo obwetaavu bw’obukiiko buno kuba tewabadde babutuulako okusobola okukola ku nsonga ez’enjawulo. “Bakansala mbanjulira amannya g’abantu okutuula ku kkooti ya LC III n’olukiiko lw’ettaka era njagala mubakakase basobole okukola emirimu gye bateekeddwa okukola,” Ssebuggwawo bwe yasabye ba kansala.

Yagambye nti, okulonda amannya gano kyaddiridde okulonda kwa bassentebe ba LC I ne LC II ng’ekibadde kisigadde kwe kulonda abanaatuula ku kkooti ya LCIII n’ekkooti ya LC III kuba ekisanja ky’obukiiko obukadde kyali kyaggwaako.

Mu mannya agaalondeddwa kuliko: Ssewava Sserubiri ng’ono ye ssentebe w’akakiiko k’ettaka ng’atuulako ne Denis Kyobe, Teddy Nassuuna aba NRM, Sylivia Birungi owa DP ne Fred Bugoba wa FDC.

Abalondeddwa ku kkooti ya LC III kuliko: Ssaalongo Ismail Kinobe owa FDC ng’atuulako ne Fred Kiwanuka Kkwatakunsawo owa DP, Sarah Kasule owa DP, Amina Lubega owa NRM ne Annet Mbabazi owa FDC.

Bwe baamaze n’abakwasa amateeka kwe balina okukolera emirimu gyabwe nga bawuliriza ensonga ezibatwaliddwa basobole okuzituulamu nga bagoberera amateeka. Ssebuggwawo era yalonze Christine Kyeyune Kawooya era n’amusemba okutuula ku lukiiko olutwala eby’ettaka mu Kampala olwa Kampala District Land Board.

Mu ngeri y’emu Ssebuggwawo yayanjulidde olukiiko enteekateeka z’okuyonja ebyalo mu Lubaga okusobola okulwanyisa obucaafu n’okusomesa abantu ku by’obuyonjo kuba enkuba eneetera okutonnya nga baagala etandike nga waliwo ekikoleddwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA